OMUTUME Blare, akubidde abaana ba ghetto oluyimba lw’atuumye ‘Mulokoke’. Ono muyimbi wa gosipo ng’amannya ge ag’obuzaale ye George Williams Mubiru, afulumizza vidiyo y’oluyimba lwe olupya ‘Mulokoke’ ng’obubaka obululimu bukwata ku baana ba ghetto.
Agamba nti okuyimba oluyimba luno kivudde ku kubeera nga naye yakulira mu ghetto era azze alaba emize n’ebikolwa abaana bano bye beenyigira nga bikontana n’Obwakabaka bwa Katonda.