Kasalabecca

Bisopu Mawa ne Hawa bajaguzza emyaka 10 mu bufumbo

OMUBUULIZI w’enjiri, Bisopu Godfrey Mawa n’omuyimbi w’ennyimba za Gospel, Hawa Musa Mawa bajaguzza emyaka 10 mu bufumbo.

Mawa ne Hawa nga basala keeki ey’ekijaguzo.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUBUULIZI w’enjiri, Bisopu Godfrey Mawa n’omuyimbi w’ennyimba za Gospel, Hawa Musa Mawa bajaguzza emyaka 10 mu bufumbo.

Okwebaza baakukoledde mu kusaba okw’okukeesa obudde, okwabadde mu kkanisa ya Redeemed of the Lord Evangelistic Church e Makerere, ku Lwokutaano.

Bisopu Mawa yategeezezza nti we yawasiza Hawa, abamu baamuyisaamu emimwa, nti obufumbo bwe bwali tebuyinza kuwangaala wadde emyaka 3, kuba ebyenfuna bye byali biragaya, ate nga ye Hawa yali ssereebu.

Abo yabasekeredde ne yeebaza Katonda amukuumye n’okumugabirira, ate n’amuwa n’ezzadde. Bazzeemu okukuba ebiragaano buli omu n’asuubiza okwongera okulaga munne amapenzi.

Omukolo gwakulembeddwa Paasita Robert Kasaija. Omutume John Bunjo ye yabuulidde. Omukolo gwabaddeko ne Irene Manjeri, Wilson Bugembe ne Bisopu James Kabuye.

Bisopu Mawa ajjukirwa okuwuniikiriza abatambuze emyaka 10 emabega, bwe yasiba mmotoka zonna ku nkulungo y’e Wandegeya, n’afukamira mu luguudo wakati n’asaba Hawa Musa obufumbo oluvannyuma n’amukuba empeta

Tags: