BRUNO Betty Kabwagu, abayise ku Theater Labonita, abasanyuse. Ono ategese omuzannyo gw’atuumye; ‘Ekituufu mwagala ki’ mu ndaga bbiri nga October 24 ne October 25.
Bruno Betty (ag’obuzaale ye Bruno Sserunkuma), bamwanjula mu 2024 era ebintu n’atwala ebiwera ku buko. Kyokka n’omwaka tegwaggwaako, ne bazaawula ne kabiite we, eyali amwanjudde.
Bwe luba Lungereza, eno bagiyita ‘Reality Show’ anti Bruno Betty waakuzannya ku bizibu ebyamutuukako mu mukwano. Asuubizza abanaagenda ku Labonita, nti baakulaba ku mukyala we ‘stock empya’ era abanjulire n’enteekateeka z’emikolo era wano abamu we baavudde okwekuba obwama nti oba ye tabikoowa.
Abaanagenda, era baakulaba ku bassereebu baabwe abalala nga bazannya okuli; DJ Shiru, Ssuuna Ben, Simo Omunene w’ekibuga, Flavia Namulindwa, Lynette Xen, Reign n’abalala.