Kasalabecca

Felista ali mu bibuuzo bya S4

FELISTA Di Superstar, ali mu bibuuzo. Kaanakawala kano kayimbi era ye yayimba obuyimba okuli; Tebatukanga, Crocodile, Bw’otyo n’endala, ali mu S4 ku ssomero lya Kisaasi College School e Kawempe era y’omu ku bayizi, abaatandise ebigezi byabwe eby’akamalirizo ku Mmande.

Ying. Ssengendo ne Felista
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

FELISTA Di Superstar, ali mu bibuuzo. Kaanakawala kano kayimbi era ye yayimba obuyimba okuli; Tebatukanga, Crocodile, Bw’otyo n’endala, ali mu S4 ku ssomero lya Kisaasi College School e Kawempe era y’omu ku bayizi, abaatandise ebigezi byabwe eby’akamalirizo ku Mmande.

Amannya ag’obuzaale ye Faith Nannyanzi ng’era ye ambasada w’essomero lino abaamuwa bbasale olw’ekitone kye. Akulira ebyenjigiriza ku ssomero, Ying. Shaban Abdulatif Ssengendo awaanye Felista okuba n’empisa n’asuubiza nti baakumwongerayo ne ku haaya.

Ssengendo era awabudde abazadde abalala abalina abaana abali mu bibuuzo, okubawa embeera ennungi ebasobozesa okukola obulungi ebigezo. Felista agamba nti ebibuuzo yabyetegekedde era waakubiyita ne yeebaza essomero okumuwa omukisa ne Katonda amusobozesezza okutuuka ku kukola ebibuuzo.

Tags: