Kasalabecca

Omutume Blare akubye akayimba k’abakulira mu Ghetto

OMUTUME Blare, akubidde abaana ba ghetto oluyimba lw’atuumye ‘Mulokoke’. Ono muyimbi wa gosipo ng’amannya ge ag’obuzaale ye George Williams Mubiru, afulumizza vidiyo y’oluyimba lwe olupya ‘Mulokoke’ ng’obubaka obululimu bukwata ku baana ba ghetto.

By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUTUME Blare, akubidde abaana ba ghetto oluyimba lw’atuumye ‘Mulokoke’. Ono muyimbi wa gosipo ng’amannya ge ag’obuzaale ye George Williams Mubiru, afulumizza vidiyo y’oluyimba lwe olupya ‘Mulokoke’ ng’obubaka obululimu bukwata ku baana ba ghetto.

Agamba nti okuyimba oluyimba luno kivudde ku kubeera nga naye yakulira mu ghetto era azze alaba emize n’ebikolwa abaana bano bye beenyigira nga bikontana n’Obwakabaka bwa Katonda.

Asibuka Kawalanzigu mu disitulikiti y’e Butambala wabula nga yazaalibwa mu Makindye ate n’akuliramu nzigotta z’e Katwe mu Kampala. Kati akoowoola abaana ba ghetto okudda eri Katonda mu kayimba ke ‘Mulokoke’’.

Tags: