Kasalabecca

Youth Wealth Creation Programme esitudde eby’enfuna by’abantu mu Nakawa.

Faisal Ndase ng'alambula ku bantu abaganyuddwa mu nkola ya Youth Welath Creation
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Youth Wealth Creation Programme esitudde eby’enfuna by’abantu mu Nakawa.
Abantu abasoba mu 250, mu munisipaali ye Nakawa, abaaganyulwa mu pulogulamu ya Youth Wealth Creation, ewagirwa State House okuyita mw’agivunaanyizibwaako Jane Barekye balaze essanyu ku ngeri pulogulamu eno gy’esituddemu eby’enfuna byabwe ne basiima pulezidenti ne Barekye olw’okufa ku bamufunampola.

Faisal Ndase ng'alambula ku bantu abaganyuddwa mu nkola ya Youth Welath Creation

Faisal Ndase ng'alambula ku bantu abaganyuddwa mu nkola ya Youth Welath Creation

Olwaleero nga September 9, 2026, kodineta wa pulogulamu eno Faisal Ndase atalaaze ebitundu bya Nakawa okuli; Luzira, Kasokoso, Bugolobi, Kitintale n’ewalala ng’alambula ebintu eby’abaweebwa bwe baabikozesa wabula by’asanzeeyo bimutadde akaseko ku matama.

Faisal Ndase ng'alambula ku bantu abaganyuddwa mu nkola ya Youth Welath Creation

Faisal Ndase ng'alambula ku bantu abaganyuddwa mu nkola ya Youth Welath Creation

Ndase abakubirizza okugenda mu maaso n’okukola kubanga pulezidenti Museveni agenda kubongera ebintu era n’ategeeza nti pulogulamu kati batunuulidde okujongera mu bitundu bya Wakiso
Tags: