Kasalabecca

Ashraf Semogerere awandiise ekitabo ku Kato Lubwama

GIWEZE emyaka 3 bukya Kato Lubwama ava mu bulamu bw’ensi. Omu ku baali mikwano gye, Hajji Ashraf Ssemwogerere amuwandiiseemu ekitabo ky’atuumye ‘A brother That never Was’.

Ssemwogerere ne Lubwama nga bali ne , Mariam Ndagire ne Sarah Mukasa mu 2008.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

GIWEZE emyaka 3 bukya Kato Lubwama ava mu bulamu bw’ensi. Omu ku baali mikwano gye, Hajji Ashraf Ssemwogerere amuwandiiseemu ekitabo ky’atuumye ‘A brother That never Was’.
Mu kitabo kino, annyonnyola engeri gye yasisinkana n’omugenzi ku Riverside Theatre mu 1986. Eno, bombi baali bagenze kukola yintaviyu okwegatta ku kibiina ekya Black Pearls Ltd ekyali ekya Omugave Nduggwa.

Ssemwogerere agamba nti emyaka 37 gye baamala nga ba mukwano ne Kato Lubwama, yali afuuse waaluganda wadde ng’oluusi baafunagamu obutakkaanya. Era mu kitabo kino annyonnyola ng’omugenzi bwe yaliayagala ennyo okusamba omupiira era nga yagusambira ku ssomero lya Kyaggwe erisangibwa kumpi ne Theatre ekirooto kyabwe we kyatandikira. Ekitabo kino, Ssemwogerere ateekateeka okukitongoza omwaka guno

Tags: