Kasalabecca

Princess Amirah ataddeko ‘omubiri’ abantu ne beebuuza

OMUYIMBI Princess Amirah yeefuze omutimbagano era y’aliko amasannyalaze ng’enjogera y’abavubuka b’ennaku zino bweri.

Amirah
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUYIMBI Princess Amirah yeefuze omutimbagano era y’aliko amasannyalaze ng’enjogera y’abavubuka b’ennaku zino bweri.
Nga yaakamala okutuusa mmotoka ekika kya Land Cruiser ebalirirwamu obukadde n’obukadde, kati ate akomyewo mu bantu ku bigambibwa nti ataddeko omubiri n’akirako alimu ettu lya mugema. Bwe yabadde ku kivvulu ekimu ku wiikendi, yacamudde abawagizi era abasinga eby’ennyimba ze ne babivaako ne badda ku ndabika ye.

Baatandise okwetegeereza akagoye ke yabadde ayambadde ekika kya ‘Jumpsuit’ ng’abamu bagamba nga kamukutte nnyo ate abalala nti kirabika eddembe alina lingi ennaku zino kwe kuteekako omubiri.
Abamu baatandikiddewo okusala ekigambo nti alabika anaatera n’okuyoya obuyembe ate abandi nti sipiidi eyitiridde anaakubya banne puleesa.

Tags: