Kasalabecca

Irene Ntale atabukidde abamubuuza omwana!

Mwanamuwala ono, yakola emikolo omwaka oguwedde okuli ogw’okwanjula bba Vincent Kalibbala mu bazadde era ne bakuba n’ebirayiro eby’okukuumagana olubeerera mu Klezia e Lubaga.

Irene Ntale atabukidde abamubuuza omwana!
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

IRENE Ntale, atabukidde abawagizi abamubuuza ebitagatta. 

Mwanamuwala ono, yakola emikolo omwaka oguwedde okuli ogw’okwanjula bba Vincent Kalibbala mu bazadde era ne bakuba n’ebirayiro eby’okukuumagana olubeerera mu Klezia e Lubaga.

Omwaka oguwedde ogwo Irene Ntale mwe yakolera emikolo, bassereeebu abakyala, baawera abaava ku luggya nga muno mwe muli Babby Gloria ng’amannya ge amatuufu ye Gloria Ssennyonjo ne Carol Nantongo.

Carol Nantongo, yakyaza omwami we Dylan Ssemwogerere mu bakadde era bino olwaggwa, Carol yali ttu era kati abuusa bbebi. Gye buvuddeko, Baby Gloria yassizzaayo ebifaananyi bye ku mutimbagano ng’ali ne

Tags:
Irene Ntale
Mwana
Kubuuza
Kasalabecca