Ivan Wabwire amanyidwa ennyo nga Da Agent ebitaala byamutadde.
Ono Oluyimba lwa ‘daddy’ oyinza okugamba lwazze n’ebisima anti kati naye yeeyiyemu emmotoka ekika kya ‘Mazda’
Da agent ebbanga abadde amaze ddene ng’akuuta enfudu kw’ossa n’okusaba banne bamutwalengako ku bivvulu ne yintaaviyu ku ttivvi.
Kati yatandika ekibiina ekikye ekimanyiddwa nga ‘Tokopa’ Force mwateredde ennyimba nga Baliwa, Nju ku nju, Ngalo Ngalo n’endala