Maneja wa Irene Ntale ayingide ebibajje
Sandra akola nga maneja w’omuyimbi Irene Ntale era agukoze emyaka gyonna bukyanga omuyimbi ono ayawukana ne Swangz Avenue abaali bamutwala.
Ku gw’obwamaneja kati agasseeko bizinensi y’ebibajje era kati ebiseera ebisinga abimala mu woovulo kwossa n’okukwata ennyondo.
Kino buli omu akitutte bubwe nga abamu bagamba alabika alabye nga ekijja mu maaso kiyinza obutabeera kyangu nga bw’omanyi abayimbi bwe bakyusa langi
Abalala mbu engeri gy’amulinako oluganda, alabika Ntale ye yamuwade amagezi naye atandike bizinensi eno engeri naye gy’alina eyiye ey’okutunda eddagala erisala omugejo ‘Detox’.
Ku mutimbagano, Irene nga muyimbi yasanyukiddeko maneja we wabula n’amulabula nti emisumaali ne buliti tebimumalaamu bakyalina okuleeta awaadi ya Grammy kw’ossa n’okujjuza ebisaawe.