Kasalabecca

Chris Evans talabiseekoChris talabiseeko

LYDIA Jazmine yabadde n’ekivvulu e Lugogo wiiki ewedde era abawagizi be, baabaddeyo okudigidira ku buyambi bwe. Wabula abayimbi abamu okuli; Bennie Gunter, Grenade ne Chris Evans tebaalabiseeko era abawagizi ne bababanja okulabikako ku siteegi.

Chris Evans ( ku kkono) n’omuzungu gye buvuddeko. Chris Evans talabiseekoChris talabiseeko
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

LYDIA Jazmine yabadde n’ekivvulu e Lugogo wiiki ewedde era abawagizi be, baabaddeyo okudigidira ku buyambi bwe. Wabula abayimbi abamu okuli; Bennie Gunter, Grenade ne Chris Evans tebaalabiseeko era abawagizi ne bababanja okulabikako ku siteegi.
Chris Evans gwe baasinze okubanja nga tebamulaba ku siteegi mu kaseera Jazmine we yayimbidde kolabo yaabwe ‘Mpaayo Omukisa’. Mbu Jazmine abaamulabyeko emabega wa siteegi bagamba yabadde mukaawu era yalayidde obutaddamu kugatta ne Chris Evans. Mbu obudde bwe baamala nga beegezaamu bwali bwaki nga teyasobodde kulabikako ku ekivvulu kye. Mbu, ku lunaku lw’ekivvulu ekyo, Chris Evans yalinayo omulimu mu byalo gye yagenda okuyimba nga tategeezezza Jazmine.

Chris Evans, akyasembyeyo kufulumya akayimba ka ‘Akameeza’ ke yatadde mu May. Lwe yasemba okukola ekivvulu ekikye mu 2022, yajjuza Freedom City n’ebooga

Tags: