OLUVANNYUMA lw’okufa kwa Moses Matovu abadde omuyima ate omu ku bayiiya
mu bbandi ya Afrigo, abagikulira balonze maneja omupya.
Herman Ssewanyana Omwana w’Enseenene, yalondeddwa okuyamba ku mirimu gya bbandi eno. Waakuyambako James Wasula aludde ng’akolagana ne Moses Matovu mu kukwasaganya emirimu gya bbandi eno. Bino bijjidde mu bibuuzo ebingi ku kiki bbandi
ky’ezzaako era yawandiise ebbaluwa entongole eraga enkyukakyuka zino.
Okusinziira ku bbaluwa, bbandi eno egamba buli eyali abasasudde okuyimba bajja kumuyimbira. Obumu ku buvunaanyizibwa obwaweereddwa Ssewanyana, kwe kukwasaganya ebyuma bya bbandi bituuke mu kifo mu budde, okusasula abakubi baabyo n’okusooka ku kifo we bagenda okukubira endongo, nga Moses Matovu bw’abadde akola.