KAROLE Kasita yandiba ng’ekivvulu kya Serena kyamukolera. Gye buvuddeko, yasisinkanye abawagizi be n’abawa obuuma obusiika emberenge, ekikolwa ekyoleka okubaddiza.
Kino agamba yakikoze olw’okwagala okutambula awamu nabo mu nkulaakulana. Agamba tekiyamba ye ng’omuyimbi okugaggawala n’okuvuga mmotoka ez’ebbeeyi ng’abawagizi be abamuwadde ssente abalese emabega era n’akubiriza abayimbi abamusingako okumukoppa.