Kasalabecca

Jose Chameleone abaddizza omuliro

JOSE Chameleone (ku ddyo) yalabikiddeko mu katambi ng’atambula ng’atalina amaanyi.Awalala be yabadde atambula nabo baatuuse n’okumukwatako aleme okugwa era wano buli omu ku mutimbagano n’atandika okuwa endowooza ye.

Jose Chameleon
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

JOSE Chameleone (ku ddyo) yalabikiddeko mu katambi ng’atambula ng’atalina amaanyi.
Awalala be yabadde atambula nabo baatuuse n’okumukwatako aleme okugwa era wano buli omu ku mutimbagano n’atandika okuwa endowooza ye.

Abasinga baamusalidde  omusango gw’obuteerekereza bitamiiza abalala nti alabika alina ekimunywa kuba ne sayizi buli olukya yeeyongera okweveera.

Bino byonna tebyamusanyusizza era eggulo yakedde kubalangira n’okubakudaalira.
Yagambye nti abayimbi bangi abafudde  naye ye akyali mulamu, nti lwaki endabika ye efuuka emboozi ku mutimbagano.

Yanokeddeyo abantu abatono ennyo be yasigaza nga mikwano gye wabula n’asuubiza okufa n’omuntu amuvvoola n’okumukonjera.

Tags: