Kasalabecca

Afrigo efunye omusika wa Matovu

OKUFA Moses Matovu owa Afrigo Band gye buvuddeko kwaleetawo ebibuuzo ku anianaamusikira mu bandi eno.

Ibra Matovu
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OKUFA Moses Matovu owa Afrigo Band gye buvuddeko kwaleetawo ebibuuzo ku ani
anaamusikira mu bandi eno.

Wiikendi ewedde bbandi eno lwe yazzeemu okuyimba era baacamudde abawagizi mu bitundu by’e Komamboga.

Eno gye baayanjulidde Ibrahim Matovu omu ku batabani b’omugenzi nga omusika wa taata we.

Ibra nga abasinga bwe bamuyita ayambalira ddala nga omugenzi era abantu abasinga bagambayeetagaamu obudde naye ekiraka ajja kusobola okukiziba.

Mu enkyukakyuka endala, Herman Sewanyana naye yaweebwa
 gw’okulondoola ebivuga kw’ossa n’okukulira banne ababikuba omulimu omugenzi gw’abadde akoledde emyaka.

Tags: