🇺🇬 Tukwagaliza Olunaku olw'Ameefuga ag'e 64 olulungi 🇺🇬
  *   🇺🇬✨ Okujaguza eddembe lyaffe, obusika bwaffe, obumu, okwesiimisa n'omwoyo gwa Uganda. Tiimu ya Bukedde ekwagaliza Olunaku olw'ameefuga olw'omulundi ogwa 64!🎉🇺🇬   *  
Kasalabecca

Bizinensi gikube abantu mu maaso...

OMUYIMBI Chris Evans, amaze akabanga nga tategeka kivvulu, omwaka guno yeewaddeyo akitegeke. Kyokka kino, akitaddeyo olunaku lwe lumu n’ekya Jose Chameleone nga byombi biri mu December.

Chris Evans
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUYIMBI Chris Evans, amaze akabanga nga tategeka kivvulu, omwaka guno yeewaddeyo akitegeke. Kyokka kino, akitaddeyo olunaku lwe lumu n’ekya Jose Chameleone nga byombi biri mu December.

Bwe yasooka okukola ekintu kye kimu mu 2019 ng’ategeka ekivvulu ku lunaku lwe lumu ne Chameleone, yakomekkereza, akaaba ne yeekwasa mbu abayimbi abanene mbu banyigiriza abayimbi abato (ndowooza ku olwo, ye yali omuto).

Omwaka guno akoze ekintu kye kimu.

Chris Evan, amaze akabanga nga tategeka kivvulu era abamu ne balowooza nti y’omu ku bayimbi abaasalawo okulima, ng’okuyimba bakuwa obudde butono.

Tags: