Ebikujjuko by’ameefuga ga Uganda ag’omulundi ogw’e 64 buli omu gamuwuuba lulwe.
Abayimbi bo bali ku mudido anti bano bapangisibwa okucamula abadigize mu bifo eby’enjawulo.

Fire baby ali Germany
Winfred Nakanwagi amanyidwa nga Winnie Nwagi mugwanga talimu era mutaka e Bugirimaani.
Eno yatonnyeeyo eggulo ku Lwokusatu wakati mu keetalo ka Bannayuganda abawangaalirayo abamaze akabanga nga bamwesunga okubasanyusa ku Lwomukaaga luno luno.