Kasalabecca

Winnie wa Mummy yeevuma omukwano gwa King Saha

EBYA laavu y’omuyimbi Kingi Saha ne munne Winnie wa Mummy bitabuse. Winnie wa Mummy asinzidde ku mutimbagano gwa Tik-Tok n’ayogera obulumi bw’ayitamu ng’alumiriza King Saha okubumutuusaako. 

Winnie wa Mummy yeevuma omukwano gwa King Saha
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

EBYA laavu y’omuyimbi Kingi Saha ne munne Winnie wa Mummy bitabuse. Winnie wa Mummy asinzidde ku mutimbagano gwa Tik-Tok n’ayogera obulumi bw’ayitamu ng’alumiriza King Saha okubumutuusaako. 

Winnie Wa Mummy ne King Saha

Winnie Wa Mummy ne King Saha


Winnie wa Mummy ng’amannya ge ag’obuzaale ye Winnie Nakafeero era nga muyimbi, yeegatta ku kibiina kya King Saha ekya Kings Love Empire omwaka oguwedde era abamu babadde bamanyi nti enkolagana ye ne King Saha, ekoma ku bya kuyimba era nga nabo bennyini, ebya laavu, tebabyogerako.

 

Wabula ku Tik-Tok, Winnie yategeezezza nti babadde mu laavu gy’alabiddemu ennaku eterojjeka ate mu kimugunyu ne yejjusa okugwa mu mukwano ne Saha. 

 

“Mbadde nkubwa nga n’abantu bange balaba okuli n’abehhanda zange,” Winnie wa Mummy bwe yategeezezza n’ayongerako nti; “Ogwasembayo okukubwa kata nveemu eriiso, mbadde mpisibwa bubi.’’ Bino yabyogedde akaaba era n’asaba Rachel Kente, muka King Saha okumusonyiwa bw’aba alina kye yamusobya.

 

 Mu August w’omwaka guno ng’ebula ennaku mbale ekivvulu kya Saha kibeewo, Winnie wa Mummy yakwatibwa bwe yali ne King Saha era poliisi n’etegeeza nti omukyala Rachel Kente yali amugguddeko omusango gw’okukozesa obubi omutimbagano n’amuvvoola. 

 

King Saha ensonga yaziyingiramu Winnie wa Mummy n’ayimbulwa ne bayimba bombi ku kivvulu ekyo. Winnie, asabye King Saha nti ekintu bakite bwe kiba kigaanye era nti ye ayagala kubeera na ffamire ye.

Tags:
Winnie wa Mummy
King Saha

Emboozi Ezifanagana