Kasalabecca

Buchaman ne Sempijja beekiise mu ssente za bapulomoota

Kivvulu ki wano mu Uganda omuntu kyasobola okutegekera akawumbi ka ssente ng’abamu bwe balaga? Abamu baali bataddemu obukadde 10 kati baagala 100

Buchaman ne Sempijja beekiise mu ssente za bapulomoota
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ENTEEKATEEKA za gavumenti okuliyirira bapulomoota n’abayimbi abaali batadde ssente mu bivvulu bya ppasika ne bisaazibwamu olwa corona zandijjamu omukoosi oluvannyuma lwa Buchaman ne Ssempijja okuddukira ku poliisi ne bawakanya enteekateeka eno.

Bano we baviiriddeyo ng’abayimbi ne bapulomoota abaali bategese ebivvulu wakati wa March ne July ne bisaazibwamu beesunga kufuna ssente oluvannyuma lwa gavumenti okuteekawo obuwumbi 6 ez’okubaliyirira.

Ssempijja omukwanaganya w’ekibiina kya UMP-NET omuli abayimbi, abategesi b’ebivvulu ne bannakatemba n’abalala ng’ali wamu ne Buchaman omuwabuzi wa pulezidenti ku nsonga z’omu Ghetto, ku Lwokutaano baasisinkanye AIGP Edward Ochom akulira ebikwekweto mu ggwanga, gwe beemulugunyirizza ku bamu ku bantu abateekateeka okufuna ssente nti tebalina bivvulu bye baali bataddemu ssente ate abalala ssente ze baagala okubaliyirira nnyingi kw’ezo ze baali bataddemu.

 

Mu nsisinkano eyabadde ku kitebe kya poliisi e Naggulu, bano baasabye afande Ochom alagire abaduumizi ba poliisi mu disitulikiti ez’enjawulo omugambibwa okuba nti mwe mwali mutegekeddwa ebivvulu okufulumya enkalala z’abo abaali basabye olukusa lwa poliisi n’ebimu ku bisaanyizo omuntu ategeka ekivvulu byalina okutuukiriza.
“Gano malya nsimbi agajjuddemu abafere abaagaala okulya ssente za gavumenti, tetugenda kukkiriza.

Kivvulu ki wano mu Uganda omuntu kyasobola okutegekera akawumbi ka ssente ng’abamu bwe balaga? Abamu baali bataddemu obukadde 10 kati baagala 100.
Ffe tuli beetegefu okusisinkana Pulezidenti Museveni tumutegeeze ekituufu mu nsonga zino” bwebatyo obwedda bwe bawera.

BASABYE POLIISI OKWEKALAKAASA
Ssempijja ng’ayita mu kibiina kya UMP-NET era yawandiikidde poliisi ng’agisaba olukusa emukirize ne banne okwekalakaasa mu mirembe nga batambula okuva e Kibuye okutuuka mu maka ga pulezidenti e Ntebe batwaleyo okwemulugunya ku nsonga y’emu era bano baagala embalirira ya ssente akawumbi kamu n’obukadde 800 ezaasooka okuweebwa bapulomoota abagamba nti baafiirizibwa olw’ebivvulu bya Kyalenga bye baali bategese gye buvuddeko.

ABAPULOMOTA BABASEKEREDDE
Robert Jackson Nkuke (Mutima) omu ku bateekateeka okufuna ssente zino agamba nti yali ategese ekivvulu e Masaka, Arua ne mu bitundu ebirala yasekeredde Ssempijja ne Buchaman obwedda b’ayita ab’emitima emibi abataagaliza era nti bafunye ensaalwa okulaba nga bagenda kufuna ssente.
Ono agamba bano ne bwe bannaakola batya tebakyayinza kubalemesa kufuna ssente kubanga buli muntu yawaayo dda empapula ze baamusaba okukakasa era bawadde amagezi okubawagira mu kifo ky’okubalemesa.

Tags:
Buchaman