
Frank Lukwago
Journalist @ New vision
Kino kiddiridde abavubuka abatambulira mu kibinja ekyakazibwako eggaali okuteega ne bakuba Wilfred Mwesigye eyabadde akedde mu kibuga ku Lwokubiri ne bamubba n'asigala ng'anyiga biwundu.
Mwesigye omutuuze w'e Ndejje Central mu Makindye Ssaabagabo yagambye nti yakedde mu kibuga era yabadde atambula ku luguudo lwa Bena Kiwanuka abavubuka abaabadde mu kibinja ne bamuyiikira ne bamukuba saako n'okumunyagulula.
Yagambye yalemeddwa okumanya omuwendo gw'abavubuka ogwamulumbye. Baamubbyeko essimu ye ne ssente emitwalo 20 ze yabadde nazo yabadde akedde okugenda ku dduuka w'akolera.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emirirwano Luke Owoyesigyore yagambye nti poliisi egenda kwekebejja ebifaananyi ebyakwatiddwa kamera zaayo ez'oku nguudo basobole okubakwata.
Mwesigye yagguddewo omusango oguli ku fayiro nnamba SD 02/02/06/2020 ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.