ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde 35 kw'obo obukadde 85 gavumenti ze yabaliyirira.
Cathy Lutwama
Journalist @ New vision
ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde 35 kw'obo obukadde 85 gavumenti ze yabaliyirira.
Bya FLORENCE TUMUPENDE
ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde 35 kw'obo obukadde 85 gavumenti ze yabaliyirira.
    Ensimbi zino Pulezidenti Museveni yazibasuubiza okuduukirira amaka g'abasiramu abattibwa e Bushenyi mu lutalo Obote lwe yamaamulako Amiin ekyaviirako Abasiramu bangi okufiirwa obulamu bwabwe.
    Famire y'omugenzi Iddi Tamukedde eyattibwa mu lutalo luno yasalawo okuddukira mu bitundu by'e Kyazanga okwekukuma eno gye baafunira amawulire nti famire zino zeerondemu omukulu waazo anaakwasibwa obuyambi buno.
    Bano balonda omusika waabwe Yusuf Mubiru mu mwaka gwa 1979, amaanyi bwe gaagenda gamukendeera kwe kusalawo balonde Azidah Namutebi yaba addukanya emirimu gino.
    Namutebi yakabatema nga gavumenti bwe basasudde obukadde 50 nga bagenze okukizuula nga bwali obukadde 87 kwe kusalawo bamukube mu mbuga abitebye.
    Mu lukiiko olutakiriziddwaamu bannamawulire nga lukubiriziddwa akulira eby'okwerinda ku ggombolola ye Kyazanga, Obed Maniliho lwawedde Namutebi abuliddwa empapula kwe yafunira ssente zino ne balwongezaayo.
    Namutebi ayise manju oluvannyuma lw'okukwekebwa mutabaniwe wabula nga bbo aba famire okubadde Yusuf Mubiru, Zainab Nansubuga, Bashir Nsubuga nabalala baweze nti ssenga wakubawa ensimbi zaabwe. 
     Ssentebe w'ekyalo ky'e Kakuuto, Swaibu Muyanja yategeezezza nti yafuna okwemulugunya kw'abaana bano nga balumiriza Namutebi okubabbako ensimbi era ensonga zino kwekuzongerayo okusobola okufuna obwenkanya.