OMUVUBUKA akkakkanye ku kitaawe n’amutema enkumbi bbiri ku mutwe n’amutta ng’amulanga okumulyako emmere buli lunaku n’atamuterekera.
Musasi wa Bukedde
Journalist @ New vision
OMUVUBUKA akkakkanye ku kitaawe n’amutema enkumbi bbiri ku mutwe n’amutta ng’amulanga okumulyako emmere buli lunaku n’atamuterekera.

Ono abatuuze baamusanze agezaako okudduka ne bamukwata era kati akuumirwa ku poliisi y'e Lugazi.

Herbert Ssendi (20) y'agambibwa okutta kitaawe, Andrew Lubanga (70) nga byabaddewo mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano ku kyalo Baamungaya mu Divizoni y'e Najjembe mu disitulikiti y'e Buikwe.

Ssendi kigambibwa nti yasanze kitaawe ng'nnali ne muzzukulu we Teddy Namava (4) nga balya ekyeggulo ne batamufaako kuba era yabadde amaze olunaku lulamba nga tebamulabyeko.

Olwabuuzizza kitaawe lwaki tamuterekedde mmere kitaawe n'amuddamu ng'amubuuza gye yabadde asiibye naye obusungu kwe kumukwata n'aggyayo enkumbi mu nsonda n'amutema emirundi ebiri ku mutwe olwamaze n'asuulawo enkumbi n'adduka.

Teddy Namava (omuzzukulu) yafulumye ebweru n'agenda ku muliraano ew'omukyala Sylvia Kanatta n'amutegeezaako. Kanatta okutuuka nga Lubanga asambagala kwe kukuba enduulu abantu okutuuka ng'amaze okufa.

Baayise poliisi eyazze n'etwala omulambo mu ggwanika e Kawolo. Sendi nga yaakakwatibwa yagambye nti kitaawe abadde aludde ng'amulyako emmere kyokka nga babeera bombi.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Ssezibwa yagambye nti Sendi baamugguddeko omusango gw'obutemu.