Mukyala muto ayitiridde okujooga mukyala mukulu

Nina abakyala babiri naye mukyala wange omuto ayiikiriza nnyo omukyala omukulu ate omukyala omukulu alowooza nti nze mugamba okukola by’akola. Senga nkoze ntya omukyala omuto obutajooga mukyala mukulu, sirina mirembe.

Mukyala muto ayitiridde okujooga mukyala mukulu
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Mwana wange ng’olabye. Naye oluusi gwe ng’omusajja oyinza okuleeta embeera eno.

Bw’ofuna omukyala omuto si kirungi kwogera byama bya mukyala yenna gw’olina. Kubanga abakyala abamu singa amanya obunafu bwa muggya we atandika okumujooga.

Omusajja yenna ng’oyagla okufuga amaka go obulungi olina okwesigaliza ebyama by’amaka. Abakyala ab’edda baafumbanga ne baggya baabwe bulungi kubanga nga babeera mu maka bonna n’omwami waabwe. Naye kati buli mukyala abeera n’amaka ge.

Ate abasajja abalala bw’afuna omukyala omupya ng’amuwaana okumulaga nti y’asinga b’alina. Kati ne weebuuza nti oba tabaagala lwaki ali nabo. Embeera eno mu maka y’ereeta ebizibu nga bino.

Ate oluusi omukyala kennyini ayinza okuba ng’alina empisa mbi. Ng’azze kulemesa bakyala b’asanze mu maka, n’atamanya nti omusajja ono naye ayinza okumwefuulira n’amuzzaako omukyala omulala. Kubanga omusajja bw’aba asobola okufuna omukyala owookubiri oba owookusatu kitegeeza era asobola okufuna owookuna.

Kati gwe ng’omukyala omugole leka kuyisa banno bubi. Ate waliyo abakyala abayingira
mu bufumbo ne bakozesa obunafu bw’omusajja okujooga abakyala
abalala.

Kati mwana wange gwe nnannyini bakyala abo olina okubafuga. Abasajja ab’edda baali
bamanyi okufuga bakyala baabwe bulungi era ng’omukyala omukulu asigala kaddulubaale oba omukyala afuga abakyala abalala mu maka. Era nga omusajja embeera eno y’agiteekawo.

Kati mwana wange olina okufuga omukyala ono omuto alekera awo okujooga omukyala omukulu.

N’ekirala mwana wange nsuubira olina abaami abakulu b’omanyi nga balina abakyala abasukka mw’omu nga balina emirembe. Beebuuzeeko engeri gye batambuza obufumbo.

Nammwe abakyala si kirungi kujooga baggya bammwe be musanze mu maka. Fumba bibyo naye banno baveeko. Eyakuleeta mu maka ago gw’olina okulwanyisa so si munno gw’osanze.

Ate oba wakkiriza okufumba, tononooza.