Abasajja balabe dduka! omusajja yantamya omukwano kati ndaba mulabe!

Sep 19, 2023

"Bwe mpulira nga nfunyeemu ka situleesi, nga mpuliriza myuziki oba nga ng'enda okulambula n’okucakala"

NewVision Reporter
@NewVision

Wenna nkulaba weeyisaako eby’abalungi?

Era ddala kuba nange ndi mbooko.

Weebale kunyirira
Kitiibwa kya Mukama.

Naye onfaananidde omuntu gwe mmanyi?
Nga wansanga wa? Nga sitera kulabikalabika.

Yiii.. ky’ogamba ggwe osiiba mu nju tofuluma?
Lwe kinneetaagisizza nkikola

Mbuulira amannya go, tutandikire awo okumanyagana
Nze Vanessa Komuhangi, nga mbeera Kawempe.

Okola mulimu ki?
Ndi musasi w’amawulire ku mukutu ogumu.

Mmwe be basiiba bakuba ttiyagaasi? Eyo embirigo ogibeeramu otya n’osigala ne ku mulembe.
Nsinga kusaka mawulire ga byamasanyu na byabulambuzi. Eby’amasasi ne ttiyagaasi sibyesembereza nnyo kuba n’ebyobufuzi sirina budde bwabyo.

Ndowooza mu byamasanyu gy’okoppa emisono egiriko n’ogisabulira banno ku mulimu?
K’abi ki mw’ekyo? Omuwala yenna alina okulabika obulungi ng’ayambala ebiri ku mulembe. Abawala abataagala kunoonyereza biriko basigalira nnyo emabega.

Wamma omukwano kye ki?
Kye kintu ekirungi ky’owulira eri munno nga kiviira ddala ku ntobo y’omutima gwo. Naye nze siri mu laavu.

Nga onneesoose mangu?
Nkulabye nga kye kibuuzo ky’oddako okumbuuza. Omanyi bannamawulire mwakula awo.

Naye kijja kitya nga toli mu laavu ate ng’endabika yo, olinga bano abawala be bammetta omukwano ekiro?
Abasajja balabe dduka. Nnaliko mu mukwano, omusajja n’ankola ebyaguntamya. Kati ndaba balabe.

Kati obeerawo otya?
Kati nneekolera mirimu gyange era ng’oggyeeko ogw’amawulire, nkola ku gw’okuwunda abantu nga mbakuba ‘make-up’’

Mwe musiiba muyoola ssente kuba abawala ennaku zino tebagwa kwekuba ‘make-up’
Waaa... wonna ekonome yakaluba naye ate tulina kusigala nga tuyiriba kuba bwe tunaabivaako, tunaggya wa ezitubeezaawo?

Lwe bikusobodde omalako otya?
Bwe mpulira nga nfunyeemu ka situleesi, nga mpuliriza myuziki oba nga ng'enda okulambula n’okucakala nga ndi ne mikwano gyange.

Biki ebisinga okukunyumira?
Okugenda okukola soopingi mu ‘mall’ n’okulaba sineema.

Ebifo byonna by’okonyeeko tewagendayo mwavu?
Anti ‘class attracts class’.

Mpolampola nnyabo, bano be tuwandiikira basomi ba Luganda
Ndowooza ka nkusiibule

Lindamu katono. Ani gw’otwala ng’ekyokulabirako kyo?
Mmange Sharifah Nalweyiso, kuba ambeereddewo mu buli mbeera.

Mbadde mmanyi nti abaana abawala basinga kukwatagana na ba kitaabwe
Ekyo wakikwata bubi.

Simanyi obulungi era wabuggya ku maama wo?
Nnyo n'amaanyi.

Kati akwagala ayinza kukufuna atya?
Ku buli mukutu gwange ogwa ‘social media’ nkozesa ‘Nessa Ruby’, abanjagala munnoonyeko mujja kunfuna.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});