Amawulire

'Engeri Yaaya gye yasaanyaawo obufumbo bwange'

Rosette Namara, nakati akyalojja omukozi eyasaanyawo obufumbo bwe obwali bumaze emyaka 15.

Namara bwe yali asibamu engugu oluvannyuma lwa bba okumugoba ng’aganzizza omukozi
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Rosette Namara, nakati akyalojja omukozi eyasaanyawo obufumbo bwe obwali bumaze emyaka 15.

Omusajja bwe yaleeta omukozi awaka oluvannyuma ne yeefuulira mukyala we n’amugoba awaka ne yeddiza omukozi.

Yafuna amubudamya n’abaana baabwe abana be baazaala okuli omukulu ow’emyaka 15, wabula kati baayawukanira ddala omusajja n’agenda n’omukozi.

Namara agamba nti, yali amaze ne bba emyaka 16 nga balina abaana bana omukulu wa myaka kati 17, yamuwasiza waabwe ku buyumba obuli awaka wa nnyina era we baazaalira abaana baabwe.

Baze, yaleeta omuwala ewa nnyazaala wange we twali tubeera nga omukozi okuyambako ku mirimu, okuva lwe yamuleeta embeera ze ne zitandika okukyuka n’asengukira ewa nyazaala nga gy’asula nagenda okukinoonyerezaako ne nkizuula ng’omukozi oyo muganzi we.

Yalekera awo okutuwa obuyambi, ng’abeera atuvuma buli kaseera n’abaana n’agaana okubaweerera mbu talina ssente, olumu nnali ηηenze okuyiiya ssente, nagenda okudda ku nnyumba yaffe ng’asibyeko kkufulu empya, ne ntandika okusuula wabweru n’abaana baffe.

Yeegatta n’abamu ku balamu bange ne batandika okungobaganya nti, mbaviire
kubanga we tusula si wa baze wa nazaala wange, kyokka nga we tubadde ebbanga lyonna, abatuuze baagezaako okunnwanirira nsigale awaka naye maama byagaana.

Omukozi nga naye afunze ekyonga, anvuma n’okwagala okunkuba, n’akadaala ke nnali ntaddewo okutunda ennyaanya n’ebiriibwa nako ne bakakumako omuliro, era baze n’anjatulira nti, takyanneetaaga mmuviire.

Okutuuka lwe nakoowa ne mbaleka era omuwala n’atwala amaka.