Ebintu 10 omukazi by'asobola okkola okwongera omusajja essanyu ewaka

Jan 09, 2024

vEMIRUNDI egisinga kumpi ebitundu 80 ku buli 100 omukazi y’abeera n’ekisumuluzo ky’essanyu ly’awaka nga bw’asalawo okuggulawo awaka wabeera wanyuma nga wajjudde ‘vayibu’ era n’ebikolebwa bibeera bisuffu.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

EMIRUNDI egisinga kumpi ebitundu 80 ku buli 100 omukazi y’abeera n’ekisumuluzo ky’essanyu ly’awaka nga bw’asalawo okuggulawo awaka wabeera wanyuma nga wajjudde ‘vayibu’ era n’ebikolebwa bibeera bisuffu.

Bwekityo abakyala kiri mu mikono gyammwe okussaawo essanyu mu maka olwo omwami n’abeera ng’akwesunga, okukusiima n’okumuwewula ku situleesi  ‘economy’ y’ennaku zino eyafuuka kaweerege ng’eddya ly’omunafu. Maama bw’aleeta essanyu awaka , abaana nabo babeera basanyufun’okweyagalira awaka.

OMUKAZI BW’ANYIIGA BINGI EBIKOSEBWA Mathias Ssekabira, akulira abavubuka mu kigo ky’e Lukaya: Omukyala nga yanyiize obulungi buli ekiri awaka kiroza ku bukambwe, okuva ku bantu okutuuka ku nsolo ezirundibwa.

OMUKAZI BW’ANYIIGA BINGI EBIKOSEBWA Mathias Ssekabira, akulira abavubuka mu kigo ky’e Lukaya: Omukyala nga yanyiize obulungi buli ekiri awaka kiroza ku bukambwe, okuva ku bantu okutuuka ku nsolo ezirundibwa.

Ate bw’abeera munyiivu omusajja, abaana oluusi n’ebisolo ebibeera awaka byonna bigabana ku bunyiivu bwa maama!
Leero tukuleetedde ebintu 10 ebyesigamye ku mukazi okussaawo essanyu mu maka.

1 Ensonga z’ekisenge kale oba kuyite okukalakata: Teri kiwa musajja ssanyu nga kwejavaana mukyala we mu nsonga za laavu.OMUKAZI buli lw’afuba okusanyusa
bba mu kitanda, awaka tewatera kubula ssanyu. Ng’ogyeko ensonga ezo okubeera enkumuufu, omukazi bw’aziteekamu ebisoko, kirina engeri gye kiwa omusajja essanyu n’okwesunga oba okumulowoozaangako buli kiseera.
Oyinza okuteebereza omusajja ky’abaako obw’olumu ng’omukazi amusosonkerezza n’amwesabira ensiitaano? Ku zino essimu ezajja fumintiriza ng’omusajja abadde ku mulimu oba ng’aliko gy’abadde alaze omukazi n’amuweereza ka mesegi nti ‘Daddy do you know that tonight am more than ready for you darling’ Amakulu ‘Ddadi okimanyi
nti nkwesunze mu kitanda ekiro kya leero ky’otoyinza kuteebereza!  Mesegi ng’eno esoomooza omusajja era oyinza okwekanga ng’agisomye emirundi egisukka ne 10 nga yenna mumegerevu ng’alinga atakkiriza. Okugyongeramu ekirungo omukazi oyinza okwekuba ekifaananyi ku ssimu ng’oyambadde bulungi empale ey’omunda kyokka
ng’okuva ku kkundi okutuuka ku maviivi tekuli lugoye lulala okuggyako kawale mpozzi n’obutiiti okwongera okukkaatiriza ensonga gy’oliko.
Olumu neewuunya abakazi abeemulugunya ku basajja baabwe nga bwe bali abenzi. Naye waliwo omusajja ayinza okubaliga oba okugenda mu bwenzi nga wamuweerezza
mesegi eyo waggulu  ng’omwepikira n’ogiwereekereza n’akafaananyi ke twogeddekowaggulu. Ne bwaba yabadde akoze pulogulaamu n’omukazi omulala oyinza
okwesanga nga ku olwo abise kale kiyite okufuna kye yeekwasa!
Bambi waliwo abakazi abafubye okunyumisa ensonga z’ekitanda nga balya, banywa n’okukozesa ebintu ebibaweesa erinnya lya ‘Namazzi’. Teri kisanyusa basajja okukalakata munne nga ‘Amaadi’ gali ‘clear’ nga n’ebigambo ebimuwaana bigoberera.
Bino bye bisigala mu bwongo bw’omusajja n’abeera ne ku mulimu ng’akulowoozaako oba okwejjukanya kali akafaananyi ke wamuwadde olwo abadde asumagira otulo ne tumuggwaamu.

OMUKAZI YE YINGINI ETAMBUZA AMAKA Justine Nansereko: Abakyala ebiseera ebisinga ffe yingini etambuza amaka bw’otogiwa service n’ezikira mu ngeri y’okunyiga, manya nti tewali kigenda kutambula era awaka tewaba ssanyu.

OMUKAZI YE YINGINI ETAMBUZA AMAKA Justine Nansereko: Abakyala ebiseera ebisinga ffe yingini etambuza amaka bw’otogiwa service n’ezikira mu ngeri y’okunyiga, manya nti tewali kigenda kutambula era awaka tewaba ssanyu.


2 Teekawo embeera osabe omusajja okukusiba ttawulo ng’ogenda mu kinaabiro okunaabako oba okumusaba akusumulule akaleega olwo n’okyuka n’omutunuulira omulundi gumu, omanyi kye bayita okumegerera! Abasajja baggwaamu nnyo ku bitundu ebyo ebisibwa ttawulo era kibeera kizibu obutasooka kutunulako nga tawulo tennabitugga!
Olaba ate oluusi lw’oyinza okusooka okufunamu omweyokyoyokyo n’omulumba mu kinaabiro!
3 Abasajja babeera basanyufu nga buli lw’agamba ku munne ku nsonga z’okukiika nga
tewali kuwalira oba okwekwasa. Olaba bw’otangira omusajja okukola obwenzi n’okusumululanga waleti n’akuwa ku ssente nga teyeesika. Kino kye kisumuluzo ky’omukyala nnamba emu okussaawo essanyu mu maka.
4Ekimu ku bigoba abasajja awaka ne bazzanga tulo oba okutuuka ne beesogga obuliri nga beewaayiriza okubeera abalwadde oba abakoowu ennyo kwe kubamalako emirembe
ng’oyomba, okukuba abaana n’okukanda omusajja ssente olutatadde. Teekawo embeera
y’okusanyukira omwami wo buli lw’atuuka awaka oba lw’asazeewo okumalawo essaawa empaanvu.
Edith Mukisa abuulirira abaagalana  n’okulungamya ensonga z’obufumbo agamba nti omukazi yandibaddenga musanyufu okulaba ku bba ng’akomyewo awaka oba ng’amazeewo essaawa eziwera kuba omanya nti oyo ali mu mikono gyo.
Agamba nti weewale embeera y’okuyomba ng’oyagala okubanja ebyataago by’awaka oba ekintu kye wamusaba edda okukugulira. Mukisa agamba nti teekawo embeera y’okuteesa oba okusaba ebyetaago mu mirembe. Katugeze ku bakyala bano ababiri aliwa omusajja gw’asumululira waleti nga teyeesise.

1.‘Ddadi okimanyi nti ettooke lyaffe lwaweddewo so nga n’ebirungo ebigenda mu nva birabise obutamala’ ne
1 ‘’Nze nkoowa okukujjukiza okugula ettooke ….. ate tolowooza nti ku kali 8,000/- ze
waleseewo mbadde nsobola okugulako eby’okunywera ku caayi by’abaana bo abalya
ng’abasenguka ne nfissaako n’ezebirunbgo ebigenda mu nva…… ngamba ggwe amalidde obwongo bwonna ku kunyiga essimu.’ Ku bano bombi ani ayinza okuweebwa
ensimbi amangu n’okussaawo essanyu erya namaddala awaka.

Waliwo obwambalo obuwa omusajja essanyu ng’alabye munne ng’abwesaze.

Waliwo obwambalo obuwa omusajja essanyu ng’alabye munne ng’abwesaze.


5 Okusoomooza omusajja: Omusajja buli lw’omuwa ekintu oba okumugulira ekirabo ng’abadde takisuubira, essanyu abeera na lya mwoki wa gonja. Oyinza okumugulira essaati, empale, engatto oba ne bwe kabeera ka Chocolate, nako kamuwa essanyu.
6 Obuyonjo awaka nakyo kikulu omusajja n’atuuka ng’ennyumba etegekeddwa bulungi, nga ekisenge n’obuliri bitemagana. Omukazi okweyonja n’okwefuuyira akawoowo nabyo bicamula omusajja n’abeera n’essanyu.
7 Okufumba; Wadde amaka mangi geesigama ku bakozi oba bayite ‘Maids’ okufumba
n’okukola emirimu, kirungi omukazi okuwabula oba okuteekateeka ebirina okufumbibwa.
Ssenga Joyce Tomusange agamba nti omukazi yandibadde teyettanira kusiika kisusse ate yandifubyenga okuyiiyiza bba emmere emwongera amaanyi mu kisenge okugeza gonja omwokye, emmere y’omu ttaka nga balugu, ensujju n’ebiryo byakwo, ebibala n’ebirala. 8Okubinika omusajja obuvunaanyizibwa. Abakazi abamu bamanyi okusomba ab’enganda zaabwe ne babateeka awaka nga baakugulira emmere n’ebikozesebwa ebirala.

Waliwo n’abakitunuza mu musajja okubagulira engoye n’okubasasulira ffiizi. Abalala buli ekibeera ewaabwe w’omukazi n’akitunuza mu bba ate ng’ebiseera bino engeri ‘economy’ gye yatabuka ssente ogisaasaanya mu bwegendereza. Bino bimalako abasajja essanyu awaka. 9Teri musajja ayinza kubeera na mirembe ng’amanyi oba okuteebereza nti mukazi we akola obwenzi! Abasajja balina ebbuba lingi ku bakyala baabwe nga babeera tebaagala kuwuliza musajja munne abojjerera mukyala we. Ensonga
abasinga gye bawa nti oba omukazi bw’atuuka eyo oli omusajja amuwaan  atya, ye bwaba amusinza ensumika olaba omutima bwe gugendera ddala!
Mpozzi mulimu n’abalowooza ku ky’okufunira eyo olubuto n’ajja amusiba omwana oba abaana. Abaafa edda emitima bwaba talwanye, ayinza okukuzira oba waakiri okukumiza omusu. Embeera eno omukazi alina okugyewala okukuuma essanyu ly’omusajja
awaka. Mukisa agamba nti kibeera kirungi okukwatagana awaka essanyu bwe libeerawo kuba kiyamba okuteeseza awamu ku bitumbula amaka naddala ku nsonga z’emirimu n’obutayonoona ssente mu ngeri ya kifiiriza abakazi abamu kye bakola nga bategedde
nti omusajja alina awalala gy’azubira.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});