"Tewakyali budde bwa kulimba bantu era nneewuunya abantu abalimba.

Apr 29, 2025

"Njagala okuyimba era mu budde bwange obw’eddembe kye mbaamu."

NewVision Reporter
@NewVision

Hello baby girl’
Wangi.

Nedda naawe, nziraamu ebirungi nga nze bye nkuyise!
Ha ha ha..., weeyagaliza bambi.

Okweyagaliza kya buntu....
Nkitegeera.

Oliyo otya omulungi?
Ndi bulungi, ggwe oli otya?

Milcah bw'afaanana.

Milcah bw'afaanana.

Sibadde bubi. Nteesa nti bw’oba toli ku bwangu, nnina bye nsaba okubuuzaako..
Tewali buzibu kasita tosussa ddakiika bbiri.

Oli wa mu Kampala?
Ndi wa mu Kampala era nsula Lubaga.

E Lubaga okola mulimu ki ogukukweka gutyo?
Nkola bingi naye nja kukugamba kimu, kya muzannyi wa ffirimu.

Ng’oggyeeko okuzannya ffirimu, biki ebirala by’onyumirwa kuba njagala okukola okusalawo okutuufu ku kifo we tusobola okusisinkanira ne tunyumyamu nga waliwo ebikukolera?
Njagala okuyimba era mu budde bwange obw’eddembe kye mbaamu.

Wamma, ye nsonga lwaki eddoboozi lyo obwedda mpulira nzenna linnyonyoogera amatu!
Naye musajja ggwe!

Muyimbi ki omukyala mu Uganda asinga okukikukubira?
Naava Gray, ankolera.

Mbadde mmanyi ogenda kung'amba Lydia Jazmine!
Naye mmwaagala nnyo lwakuba Naava y’ansingira.

Milcah ng'anyumidde mu kiteeteeyi ekiddugavu.

Milcah ng'anyumidde mu kiteeteeyi ekiddugavu.

Okimanyi nti ofaananamu Jazmine?
Bangi baking'amba...

Lwakuba era ggwe omusinga ebiiso ebirungi.
Weebale kusiima.

Ng’oggyeeko ffiga, amaaso amalungi n’eddoboozi kitundu ki ku mubiri gwo nga naawe kikukolera?
Maama wange yangamba emimwa gyange mirungi n’akazigo.

Mbu tugambe tolina muntu yenna akukubako nsiri ekiro?
Nnina gwe ndaba naye kiri, maama wange ye yaking'amba.

Naye abasajja abamu balya bulungi!!! 
Koma awo bambi. 

Mbu olina ensonyi?
Sizirina naye mbadde nsaba eyo tetugendayo.

Byakulya ki ebisinga okukuwoomera ...
Eshabwe n’ettooke.

Ke kasusu ka babbebi..
Kituufu nnyo.

Baakutuuma mannya ki?
Nze Milcah Mukakazana.

Singa osanga omusajja ng’alina omuwala gw’asiimye naye ng’omuwala oyo alina omulala gw’ayagala, omuwa magezi ki?
Akkirize nti baamusookayo era akikkirize nti asobola okufuna omulala akira ne kw’oyo.

Bwe guba musumaali, okomerezza yinsi mukaaga.
Tewakyali budde bwa kulimba bantu era nneewuunya abantu abalimba.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});