Ssanyu ; "Sisobola kukwatagana na musajja ankweka essimu ye"

Feb 20, 2025

Oyo atanzikiriza kukebera ssimu ye tetusobola kukwatagana, kitegeeza aba alina byankweka ebikyamu.

NewVision Reporter
@NewVision

Wamma nnyabo nsaba onnyambe.
Nkuyambe mu ki ssebo?

Nsaba onnyambe otaase omwoyo gwange n’omutima gwange.
Buzibu ki obukuliko?

Omutima gwange gukuwagira buli ky’okola wabula omwoyo guwakanya.
Kati oyagala nze nkuyambe ntya?

Omumbejja Ndagire Ow'e Maya ng'anyumye.

Omumbejja Ndagire Ow'e Maya ng'anyumye.

Nsaba omatize omwoyo gwange gulekere awo okulimba amaaso.
Sikutegeera wabula, owoza maaso, mwoyo, mutima ekituufu nkuyambe ntya?

Mu butuufu bwenkulabye bwenti omutima gwange ne gukwegomba wabula nga mwoyo andeetera okutya okukusemberera nga sirowooza nti oyinza n’okwogerako nange.
Nga kiki ekikutiisa ku nze?

Obwedda nkutiisa amaaso nga neebuuza engeri gye nnyinza okukutuukiriramu ne twogera.
Nze seeragira ku bantu era abandaba nga ayinza okubeeragirako balina endowooza nkyamu.

Sooka ombuulire ku mannya go.
Nze Mumbejja Sandra Ndagire oba oyinza okumpita Sandie.

Eeee.. obwedda njogera na Mumbejja. Ssebo bakukuumira mu lubiri lwa wa?
Nze sibeera mu lubiri mbeera wa kitange e Maya.

Kati omuwala omunyirivu nga ggwe akola mulimu ki?
Nze nkyasoma.

Abantu bangi bwe babeera mu kusoma ebitabo bibasituleesinga, ggwe tebikuleetera situleesi.
Y’ensonga lwaki kitange yang'aana okugatikka okusoma n’okukola.

Kaakati osomerera kubeera ki?
Nsoma byamawulire era ndi mu mwaka gwange ogukomekkereza.

Nga omalirizza okusoma oyagala kukola ki mu mawulire?
Njagala kubeera muweereza ku ttivvi.

Singa bakugamba kati nti bakuwadde omulimu ku Bukedde TV pulogulaamu ki gy’osaba?
Ey’Oluyimba lwo eya Nankya Jomie.

Muweereza ki owa TV gw’osinga okwagala?
Njagala nnyo Dianah Nabatanzi olw’embeera ze.

Abazadde bangi muwala waabwe bw’amaliriza okutikkirwa babeera beesunga nnyo omukolo ogwokubiri, olinayo gw’otunuulidde?
Nange ndi muntu nninayo munnange era gwe nsuubira okwanjulira bazadde bange.

Omwesiga kyenkana wa era kiki ky’osobola okumwesigisa?
Ebitundu 80 ku buli 100 era nsobola okumwesigisa essimu yange ne akawunti yange.

Tolina buzibu na musajja kukebera ssimu yo?
Yee sirina buzibu kuba nange nkebera essimu y’omusajja. Oyo atanzikiriza kukebera ssimu ye tetusobola kukwatagana, kitegeeza aba alina byankweka ebikyamu.

Kati obudde bwo obweddembe nga toli ku ttendekero obumala otya.
Mbeera mu kulaba firimu n’ okutambulako okulambula ku bifo bipya.

Okozesaaki okunyiriza olususu lwo.
Siri muntu wa ‘meekaapu’ okuggyako nga mukolo, nze neesiiga bizigo bya losoni ebirugenderako.

Singa bakuyita mu lukung’aana okwogerako eri bawala banno mu bigambo ebitasukka 10 oyinza kubawa bubaka ki?
Obubaka bwe mbawa kwe kuuma, okutya Katonda n’okuwa bazadde baabwe ekitiibwa.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});