Ssanyu ; "Tokigeza okugatikka laavu ne bizinensi"

Mar 19, 2025

"Emirimu gye tukozesa tugiteeka ku mitimbagano era bangi kwe tubafunira. Abamu, abantu be tuba tukozeeko ne basiima ne mikwano gyaffe, be bakusindikira abalala."

NewVision Reporter
@NewVision

Ng’okwataganye, osenguka?
Eno mmaali yange, nnina omukolo gwe ng'enda okutimba.

Ntuuse ku muntu omutuufu, sooka ompe ku mannya go twogere ebigasa eggwanga.
Nze Sarah Luyiga.

Osula wa?
Nsula Buziga.

Eby’okutimba ku mikolo wabisomerera?
Nasoma bya kuyooyoota nsusu z’abantu. Bino eby’okutimba nayiga biyige kuba kuva buto nga mbyegomba.

Luyiga Bw'afaanana.

Luyiga Bw'afaanana.

Obimazeemu emyaka emeka?
Naakabimalamu emyaka ebiri era ssejjusa kuyingira bizinensi eno.

Ani yakuyigiriza?
Nasooka kubinoonyerezaako oluvannyuma ne nkizuula nga nneetaaga omuntu antendeka era bandagirira ew’omuntu eyampa obukodyo era kwe ntambulira.

Okutandika bizinensi y’okutimba, omuntu ayinza kuba na kapito yenkana ki?
Entandikwa esooka, kuba na kwagala kw’ekyo ky’otandika.

Nze saatandisa kapito mungi wabula nafuna omulimu gwa mukwano gwange ne tuteesa ebbeeyi ne mmusaba ansasuleko ezisooka era ezo zennyini ze nakwata ne
mpangisaako bye natimbisa ate omukolo bwe gwaggwa n’ampa ezaali zisigaddeyo ne nfissaako. Okuva olwo sadda mabega. 

Bakasitoma mubafuna mutya?
Emirimu gye tukozesa tugiteeka ku mitimbagano era bangi kwe tubafunira. Abamu, abantu be tuba tukozeeko ne basiima ne mikwano gyaffe, be bakusindikira abalala.

Mbu wamma mwetala ku mikolo gye mutimba ne mutwaliramu ne ba bba ba bannammwe?
Abakikola mbakubiriza obutagattika laavu na bizinensi.

Eyakusiima ali atya?
Siri mufumbo naye gye ndaga ndabayo era ‘Kigozi essaawa yonna....’

Luyiga ng'anyumidde mu ssuuti

Luyiga ng'anyumidde mu ssuuti

Twetegeke kulya mmere?
N’engoye muziggyeyo muzigolole.

Kati olwo ku mukolo gwo ani anaakutimbira?
Nja kukozesa omutimbi omulala naye mmubuulire ebyo byennyini bye njagala. Ate ekirungi, bijja kutimbibwa ggulolimu ndabeko bwe bifaananye.

Olwo omwami oyo oyagala akuyise atya?
Andeke nsigale nga nkola emirimu gyange.  Ebisigadde, Mukama ajja kutubeera.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});