Minisita wa Kabaka awabudde ab’amatendekero

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde
May 12, 2024

MINISITA avunaanyizibwa ku byenjigiriza mu Buganda, Kotilda Nakate Kikomeko asoomoozezza abaamatendekero naddala ag’ebyemikono okubangula abayizi nga beesigama ku mpagi ey’obuyiiya n’obuntubulamu.
Nakate okwogera bino, yasinzidde ku ttendekero lya Johness Vocational Institute e Goma - Mukono ku mukolo gw’okutikkira abayizi abaasobye mu 100 abaakuguse mu misomo gy’ebyemikono egy’enjawulo omwabadde okukanika, okufumba, eby’emisono, amasannyalaze n’ebirala.
Yategeezezza nti ebiseera ebisinga ab’amatendekero beerabira empagi zino nti za mugaso, olwo essira ne balissa ku bye babasomesa mu bibiina ekivaako abaana okukula omuwawa.
Dayirekita w’ettendekero lino, John Sanyu Kakooza yasiimye Obwakabaka bwa Buganda olw’enkolagana gye balina nabo n’agamba nti kibayambye okutuukiriza ekiruubirirwa ky’ettendekero eky’okuyamba abavubuka obutabeera ba ngalo bunani, ne bafuna obukugu mu byemikono eby’enjawulo, ekiyambye bangi okwetandikirawo emirimu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});