Abasajja abaddugavu tebalina mukwano ate balina effugabbi
Mar 25, 2025
'Abafirika bakutamya laavu'

NewVision Reporter
@NewVision
Amazaalibwa amalungi...
Amiina, weebale kuganjagaliza.
Wenna waboobera...
Awo ensi w’enyumira.
Singa walinayo Bobi nga ggwe Barbie, ndowooza mwandifuze ne Amerika.
Ebyobufuzi sibisobola.
Kati funayo Adam w’e Uganda nga ggwe Eva...
Abafirika bakutamya laavu.
Yiii... oyogedde bubi?
Era sikyasobola kubeesembereza wadde eddakiika bwe kituuka mu bya laavu.
Mbu baali bakumenye ku mutima?
Haa... abasajja b’e Kampala baazannyira ku nze ne badda ne mu kati ne beewogoma n’omukwano ne gutuuka okuntama.
Wakola otya okuddamu okwagala?
Nalwanyisa obulumi era omutima gwange ne ngwetungira ne guddawo.
Mbuulira ku mannya go.
Nze Leticia Namugizzi.
Simanya ye ggwe omugenzi Elly Wamala gwe yayimbako?
Nedda, nze ndi mulalamuko.
Naye kano akafo kalungi .
Era ke kamu ku bifo bye nsinga okwagala kuba buli lwe nzijawo nfuna emirembe.
Weebale kulabika bulungi
Anti nnywa nnyo amazzi n’okwewa emirembe.
Osinga kubeera wa?
Bahrain
Haaaa... ne ssente olina ‘nzungu’
Ebya ssiringi byali binsembya ne mbidduka.
Okola mulimu ki?
Nnina ekitongole kye nkolamu.
Wamma, kye wavudde ogoba n’abasajja Abafirika?
Bw’otambulako lw’okimanya nti, abasajja b’omu nsi endala balina omukwano ogwannamaddala nti era ab’e Uganda bayinza okukusembya.
Hooo... wakyawa nnyo abasajja abaddugavu.
Tebalina mukwano ate abamu balina effuga bbi.
Ko ggwe?
Naawe k’olifuna omusajja Omuzungu, lw’olimanya ekigambo mukwano era ojja kugejjera mu wiiki emu anti ng’emirembe gikususseeko.
Ggwe n’omwagalwa wo, biki bye mufaanaganya?
Ffenna tukyali bato ate njagala nnyo okutambulamu ne tugenda mu bifo ebisanyukirwamu ate naye abyagala nnyo.
Mwasisinkana mutya?
Eyo emboozi mpanvu naye ekikulu nti, twasisinkana.
Biki ebisinga okukunyumira ng’oli ne munno mu bya laavu?
Engeri gy’annywegera ya bukugu nnyo n’obugambo bw’akozesa bunnyumira era awo ebisigadde byekola bwekozi.
Olabika olina omukwano?
Ate singa nnina mungi okusinga wano naye batabani ba Falaawo baali baaguntamya.
Wabula baakikukola?
Abasajja temuli bangu.
Kaseera ki akasinga okukunyumira?
Nga ndi waka mu biseera byange eby’eddembe nga sitaddeeko wadde akagoye olwo nga ndi mu ssuuti ya Eva mwe baamutondera.
Beera bulungi..
Naawe bw’otyo.
No Comment