Emmere eyongera ku bwagazi bw’omu kisenge

Apr 08, 2025

WALIWO omuntu ayita ku ddagala  ate n’agenda mu ddwaaliro afune eddagala lye limu ly’ayiseeko. Wano w’okakasiza nti okubeera omumanyi kikulu.

NewVision Reporter
@NewVision

WALIWO omuntu ayita ku ddagala  ate n’agenda mu ddwaaliro afune eddagala lye limu ly’ayiseeko. Wano w’okakasiza nti okubeera omumanyi kikulu.
Leero yiga era omanye ku mmere ereeta obwagazi mu kisenge, ggwe omusajja gy’osobola okulya n’obeera nga bbaatule ya mmotoka empya esaza ekimu ae omukyala n’oba nga bano ab’ekitongole kya NEMA ekikola ku by’entobazzi be kinoonya olw’okuzimba mu ntobazzi ekivaako amazzi okwanjaala.
Dokita Daniel Kamara, okuva e Bwindi Community Hospital agamba nti ensi ekyuse nnyo eviiriddeko abantu okubulwa obwagazi bw’okwegatta bwe bandibadde nabwo kuba bwa butonde. Annyonnyola nti ebintu bingi, ebireetera abantu okubulwa obwagazi bw’okwegatta nga mu muno mulimu;
l Okugejja okusukkiridde.
l Obutakola dduyiro.
l Endwadde naddala ezeekuusa
ku mutima.
l Situleesi n’okweraliikira.
l Emize emibi ng’okunywa omwenge ekisusse ne sigala n’ebirala.
Mu bakyala: Dokita Kamara agamba nti mu bakyala waliwo n’ensonga endala ezibaleetera okubulwa obwagazi omuli;

ootammeroni

ootammeroni


l Okukulirira mu myaka ne bagenda mu ‘menopoozi’.
l Waliwo enkola z’ekizaalaggumba ezikendeeza ku bwagazi bw’akaboozi.
l Endwadde ezitali zimu ze bafuna mu bukyala.
Mu baami: Nabo waliwo ensonga ezibaleetera okubulwa obwagazi nga zikwata ku bo bokka omuli;
l Ekirungo kya ‘testosterone’ okukendeera mu mubiri gw’omusajja kimuleetera okubulwa obwagazi bw’okwegatta.
Ekirungo kino kye kizaala obusimu obuleeta obwagazi bw’okwegatta era buli bwe zikendeera n’obwagazi bukendeera.
l Mu butonde, era omusajja bw’agenda akula n’obusimu buno bugenda bukendeera.
l Omusajja okukitegeera nti bw’atuuka mu kisenge, teyeegolola bulungi. Kino kiyinza okumumalamu amaanyi, n’atayagala kuddamu kwegatta.
Dokita Kamara annonnyola nti abasajja abamu tebakimanya nti, okulemererwa okufuna obwagazi kizingiramu n’obutamalaako kutuusa bakyala gye balaga era nga kiva ku musaayi gwabwe butatambula bulungi. Abalala banywedde n’eddagala eribatutteko ssente empitirivu nga baagala okumanya ekituufu sinnakindi okunywa ku ddagala ly’amaanyi g’ekisajja kyokka nga waliwo emmere sobola okuliibwa, n’eyongeza ku bwagazi bw’olina era n’otuuka ne mu kisaawe n’osaza kimu.

Agamba nti, emmere eno ebiseera ebisinga, erimu ekirungo kya ‘zinc’ era nga kino kiyamba nnyo omubiri okukola ebintu eby’enjawulo omuli;
l Kiyambako omubiri mu kukola obusimu bwa ‘testosterone’ obuyamba ennyo okulinnyisa mmuudu z’okwegatta era n’obwagazi ne bulinnya.
l Zinc mu basajja, ayamba mu kukola enkwanso.
l Era asobola okuyamba enkwaso ezo okutambula obulungi mu mubiriEbimu ku bika by’emmere, ebyongeza ku bwagazi bw’okwegatta, binnyonnyoddwa bwe biti;
1. Enva endiirwa nga nnakati, ebbugga n’ebirala bigogola emisuwa ne biggya n’ebicaafu mu mibiri. Bikendeeza ne ku butto alemesa omusaayi okudduka obulungi. Omubiri bwe gutereera, obusimu ne bweggulira bulungi, ku musajja n’omukazi omubiri gwetaaya n’olaba akaboozi bwe kataba.
2. Ebinyeebwa ebizungu: Bino birimu ekirungo kya ‘zinc’, ekyongeza obutoffaali
obuzimba amaanyi g’ekisajja era obuyamba mu kwegatta mu bakyala n’abaami. Emmere
endala erimu ekirungo kya ‘zinc’ ng’ennyama, binyeebwa ebyabulijjo nga bw’obirya biyamba okusumulula obusimu bw’obwagazi ate era biyambako n’okwongera
ku nkwaso mu mubiri gw’omusajja.

Omusajja ng’ali mu mmuudu

Omusajja ng’ali mu mmuudu


3. Wootammeroni: Eno oyinza okugiyita emmere y’obutonde ey’obwagazi kubanga;
l Ezzaamu amazzi mu mubiri, ageetaagisa ennyo mu kusamba akapiira. Nsaale mu kizibukula emisuwa mu bakyala omubiri ne guba n’amazzi era n’afuna obwagazi bwe yeetaaga okunyumya akaboozi.
l Erina ekiriisa kya ‘amino acids’ ekiyamba omubiri okukola obutoffaali obuyamba
mu kusaabulula omusaayi oguba gwekutte ne gutambula ulungi olwo omusajja
n’asobola okwegolola nga n’obwagazi we butandikira.
l Eyambako okwongeza amaanyi g’ekisajja ekikuyamba obuteemotyamotya  ng’otuuse mu kisenge.
4. Spinach alimu ekirungo kya Magnesium nga tekikoma  kuzibukula misuwa, na binywa era kiyamba n’okwongera obutoffaali mu ubiri obuleeta obwagazi.
5. Ejjobyo lirina ekirungo kya ‘Nitric oxide’ ekiyamba okuwummuza ebinywa
n’okwongera omusaayi ekiyamba okuba n’obwagazi n’amaanyi g’okwegatta.
6. Ovakkedo: Alimu Vitamin E n’amasavu ebiyamb kwongera amaanyi mu mubiri n’okuyamba omusaayi okutambula obulungi nga yongeza obutoffaali obuyamba
ku bwagazi n’okumala essaawa empanvu mu kisaawe naddala mu basajja. Era ovakkedo alimu n’ekirungo kya potassium ekikendeeza ku kirwadde kya puleesa.
7. Emmere y’empeke ng’obusigo bw’ensujju nsaale mu kukola ekirungo kya ‘zinc’
n’ekirungo kya Omega 3 fatty acids ebikendeeza ku weraliikirira ate n’omutima
ne gukola bulungi n’otuuka mu nsonga, nga tewali kye weeraliikirira. Amasavu gano
agamanyiddwa nga ‘Fatty Acids’ geenyigira mu kukola obusimo bwa ‘testosterone’ obusaale mu kwongeza obwagazi n’okusaza ekimu mu basajja.
8. Amasavu agava mu byennyanja n’enkoko malungi mu kuzibukula emisuwa ’okuyamba omutima okuba mulamu n’okutambuza omusaayi obulungi. Ate buli musaayi bwe gutambuzibwa obulungi mu mubiri, ’ensonga z’ekisenge zitambula bulungi anti teweeraliikirira kuba okimanya nti bw’onoosituka, ojja kusamba kyenda. Dokita Kamara annyonnyola nti okwongera ku bwagazi bw’olina mu kisenge, olina okuddihhana okulya  emmere eyo erimu ebirungo byo kyokka ng’era teweerabira kulya mmere ndala erina n’emigaso emirala kuba ate oyinza okugivaako n’ofunamu obulwadde obulala obukutawaanya n’otosobola kusamba mupiira.
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});