Abantu basatu abagambibwa okwenyigira mu kubba ensawo y'omusaabaze ne bagezaako n'okutema abamu ku baabadde bamuduukirira, poliisi ebakutte.
Video y'obunyazi buno obugambibwa okubeera ku Ggwanda Mall mu Kisenyi mu Kampala eggulo akaawungeezi, yasaasaanidde emitimbagano era poliisi n'esitukiramu.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, ategeezezza nti ababbi bano baabadde n'amajambiya era ne bagezaako okutema abantu.
Akiikaatirizza nti balinawo basatu nga n'abalala babayigga era nga bazudde ne pikipiki ssatu ezeyambisibwa abantu bano mu bunyazi.