Ssenga

Omwana ow'emyaka 12 , bamufumise ebiso, omulambo gwe ne bagusuula mu lutobazzi

Omwana ow'emyaka 12 , bamufumise ebiso, omulambo gwe ne bagusuula mu lutobazzi poliisi gy'egusanze. 

Omwana ow'emyaka 12 , bamufumise ebiso, omulambo gwe ne bagusuula mu lutobazzi
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Omwana ow'emyaka 12 , bamufumise ebiso, omulambo gwe ne bagusuula mu lutobazzi poliisi gy'egusanze. 

Ettemu, libadde Bulopa mu disitulikiti y'e Kamuli, bwe basse Fred Bwooye 12  . Abadde mutuuze w'e Butansi mu disitulikiti y'e Buyende. 

Kigambibwa nti ono, yasembye okulabibwako ku pikipiki nga bali ne David ow'emyaka 25 nga mutuuze w'e Mukoka mu muluka gw'e Mpakitoni mu Ggombolola y'e Bulopa. 

Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Samson Lubega, agambye nti omulambo bagusanzeeko ebiwundu ebiwerako ebyebiso era nga baguggyeyo ne BAGUTWALA mu ddwaaliro kya Kamuli General Hospital okugwekebejja nga bwe bayigga omutemu.