Ssenga

Akakiiko k’eddembe ly’obuntu kasiimye Eklezia olw’okulwanirira abanyigirizibwa

AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku kulwanirira eddembe ly’obuntu mu ggwanga aka Uganda Human Rights Commission, kasiimye emirimu egikolebwa Eklezia mu ggwanga mu kulwanirira obwenkanya eri abantu baabulijjo naddala abanyigirizibwa ekireetedde abantu bangi okufuna emirembe.

Ku kkono ye; Doreen Nabatte, Mariam Komugisha, Crispin Kaheru. Ku ddyo ye Priscilla Nyarugoye ne Lamex Omara Apitta nga bakwasa Kalidinaali ekirabo.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku kulwanirira eddembe ly’obuntu mu ggwanga aka Uganda Human Rights Commission, kasiimye emirimu egikolebwa Eklezia mu ggwanga mu kulwanirira obwenkanya eri abantu baabulijjo naddala abanyigirizibwa ekireetedde abantu bangi okufuna emirembe.
Bino byayogeddwa kamisona w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu, Lamex Omara Apitta bwe yabadde akulembeddemu ekibinja ky’abakugu okuva mu kakiiko kano okukyalira Omutiibwa Kalidinaali Emmanuel Wamala mu maka ge e Nsambya okumusiima olw’emirimu gy’akoledde Eklezia n’eggwanga okutwaliza awamu ate n’okwebaza Katonda olw’obulamu bwe.
Bwe yabadde asoma ekiwandiiko okuva mu kakiiko kano, Lamex Omara yagambye nti omulimu akakiiko k’eddembe ly’obuntu gwe kakola ogw’okulwanirira eddembe lya Bannayuganda gufaananira ddala n’ogwa Klezia ogw’okuyimiriranga ku ludda lw’abantu abanyigirizibwa era nga Eklezia yasiimiddwa olw’omulimu guno.
Bano era baasiimye ne Kalidinaali olw’ebbanga ly’emaze mu buweereza ng’akozeseza ebifo by’obukulembeze by’abaddeko eby’enjawulo okulambika abantu ku ngeri gye balina okukuumamu eddembe ly’obuntu mu ggwanga.
Ate Crispin Kaheru nga naye mmemba ku kakiiko kano yeebazizza Katonda olw’okuba nti mu December w’omwaka guno Kalidinaali Wamala agenda kuweza emyaka 100 nga mulamu bulungi n’akakasa nti era emu ku nsonga ezaatutteyo akakiiko, kwe kubaako bye bamwebuuzaako ku ngeri gye basobola okwongera okukola obulungi emirimu gyabwe mu ggwanga.
Kalidinaali Wamala yabasiimye olw’omulimu gwe bakola ogw’okulwanirira eddembe ly’abantu mu ggwanga kyokka n’abasaba okwongeramu amaanyi okulaba nga buli Munnayuganda afuna obwenkanya bwe yeetaaga.
Oluvannyuma, bano baamuwadde ebirabo eby’enjawulo ebiriko obulambe bw’akakiiko naye n’abawa omukisa bongere okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe obw’okulwanirira n’okukuuma eddembe lya Bannayuganda.