Ssenga

Omwoleso gwa Bride & Groom gwakusomesa ku bubonero obwoleka omuntu omutuufu

MUWENDO gw’abalenzi n’abawala abatuuse mu myaka gy’okuwasa n’okufumbirwa wabula nga beemulugunya munene, ng’abasinga bagamba nti tebalaba bantu batuufu be bagenda nabo mu bufumbo.

Abaagalana mu biseera byabwe eby’eddembe.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MUWENDO gw’abalenzi n’abawala abatuuse mu myaka gy’okuwasa n’okufumbirwa wabula nga beemulugunya munene, ng’abasinga bagamba nti tebalaba bantu batuufu be bagenda nabo mu bufumbo.
Abawala abamu beemulugunya nti abasajja abatuufu tebakyalabika ate n’abalenzi nabo bagamba nti abawala ba leero tebawasika. Naye obuzibu buva wa?
Abamu bagamba nti abanoonya batunuulira omuntu okusinziira ku ssente, endabika n’obulamu obulabikira ku mikutu gya ‘social media’ nga tebafuddeeyo ku mpisa, obwesigwa n’obuvunaanyizibwa.
Judith Bakirya amanyiddwa nga ssenga Namazzi ow’e Jinja ng’abuulirira abaagalana agamba nti oluusi ekizibu kiva ku ngeri abaana gye bakuziddwaamu n’engeri ensi gy’ekyuseemu. Agamba nti edda abaana baasomesebwanga kuva buto ng’ omulenzi bamubuulirira kuwasa ate n’omuwala ne bamubuulirira ku kufumbirwa n’okumuteekateeka ne kukolebwa. Naye kati abasinga bayigira ku biteekebwa ku mikutu gya yintanenti n’emikwano, egibakyamya.
“Omuwala ayagala omusajja alina ssente, mmotoka n’obulamu obw’oku kakeeka n’omulenzi naye ayagala omuwala alabika bulungi nnyo ku ssimu naye nga tasoose kwekenneenya mpisa ze,” Namazzi bw’agamba.
Namazzi ayongerako nti abalenzi abamu batidde obuvunaanyizibwa bw’obufumbo kubanga balowooza nti kitegeeza ssente ze batalina.
Ate abamu balina ebintu bye basuubira ebinene ennyo okuva mu basajja ne batuuka n’okulemererwa okulaba omuntu omutuufu kuba buli gwe balaba tatuukana
na bye banoonya bye beeteereddewoNamazzi ayongerako nti omusajja oluusi asalawo okutwala omuwala naye agenda okulaba omuwala ng’afa nnyo ku ssente n’ebintu, atandika okulowooza nti ayinza okuba tayagala mukwano gwa mazima naye omutwazi obutwazi.
EBISIBYE ABAWALA MU BWA NNAMUNIGINA
Ssenga Namazzi agamba nti ebisibye abawala mu mbeera y’okubeera ng’abalenzi babatunuulira kyamuli ne badda mu kwemulugunya n’okukuba emimiro bingi. Nti era abalenzi abamu babeera baagala okuwasa naye waliwo ebintu abawala bye bakola ebiviirako abalenzi okubatunuulira ng’abatasaanidde. Bino bye bimu ku byo:
1. Okukulembeza ennyo ssente; Omuwala bw’atunuulira nnyo ssente  z’omusajja n’obulamu obw’ebbeeyi okusinga empisa ze, abalenzi abamu batya nti tayinza kubeera mu mukwano n’obufumbo.
2. Okutya obuvunaanyizibwa; Abawala abamu banyumirwa okusamba ggawuni mu masinzizo n’okubeera mu bulamu obw’eddembe naye ate batya okuyingira obuvunaanyizibwa bw’okuzimba amaka n’omwami we n’ebibeera mu bufumbo ng’okulabirira abaana, okutwala obuvunaanyizibwa bw’omusajja n’ebirala.
3. Ebiteekebwa ku mikutu gya ‘social media’: Omulembe gwa ‘social media’ gufuukidde abawala ekizibu ky’okulabibwa ng’abayaaye. Waliwo ebintu abawala bye bakolera ku mikutu mu mbeera y’okulabwa amangu ku mikutu gya yintaneeti wadde nga bino nabyo biyinza okuleetera abalenzi okulowooza nti omuwala tannakula kugenda mu bya bufumbo.
4. Obutaba na kitiibwa mu njogera: Abalenzi baagala omuwala ayeewa ekitiibwa, omuwombeefu era asobola okwogera obulungi. Omuwala bw’aba ow’amalala mu njogera ng’anafuya abalala, abasajja bayinza okumubuusabuusa.
5. Obutaba na kigendererwa kya mukwano kitegeerekeka: Abawala abamu bayingira mu mukwano lwa birabo, kusanyuka oba kwefunira byabwe nga tebalaga nti baagala mukwano gwa kugenda mu bufumbo.
6. Okuwanika ennyo by’osuubira mu musajja: Omuwala bw’ayagala musajja atuukiridde nnyo, alina ssente nnyingi oba obulamu obwa waggulu, abalenzi abali siriyaasi basobola okumwebalama.
7. Okufugibwa mikwano: Emikwano gy’abawala egimu gisalawo nnyo mu nneeyisa zaabwe. Omuwala bw’afugibwa nnyo mikwano egitayagala bya bufumbo, abalenzi bayinza okujja nga bwe bamuleka nga tanywera oba tasalawo.
8. Obutaba mwesigwa: Abawala balimba era abeera n’omusajja naye nga tamatira, asambisa kkono ne ddyo.
9. Obutaba mugumiikiriza: Omukwano ogunaatuuka mu bufumbo gwetaaga okugumiikiriza. Omuwala bw’aba n’obusungu obungi, ate nga tateesa kugonjoola ensonga mu mirembe, abalenzi bayinza okumwewala.
EBIREETERA ABAWALA OKUBUUSABUUSA ABALENZI ABABA BABAKWANYE
l Obutaba na nteekateeka nnambulukufu: Omulenzi bw’aba talina biruubirirwa oba talaga ngeri gy’ayagala okutambuzaamu obulamu bwe naddala ku ludda lw’obufumbo, omuwala ayinza okulowooza nti tanneetegekera maka.
l Okutya obuvunaanyizibwa:
Abalenzi abamu baagala kusanyuka naye batya okwogera ku by’okuwasa, okulabirira
maka n’okukuza abaana. Omuwala buli lw’ayogera ku ky’obufumbo obuli siriyaasi ng’omulenzi atandika okwogeza ebirimi.
l Okubeera n’abawala abangi: Omulenzi bw’aba amanyiddwa nnyo mu kukyusa abawala oba okwagala abangi omulundi gumu, omuwala amubuusabuusa ku bwesigwa.
l Okukweka omuwala abantu bo: Omulenzi bw’amala ebbanga ddene n’omuwala naye nga tamutwala  mu bantu be oba okumwanjulira mikwano gye egy’oku lusegere,  muwala ayinza okulowooza nti talina kigendererwa kya bufumbo.
l Okutunuulira ebintu ebisinga okutwalira omulenzi obudde : Abavubuka abamu bamala  obudde bungi mu kucakala, mu kunywa ebitamiiza oba mu bulamu bw’okwejalabya, omuwala bw’aba nga buli kadde akulaba mw’ekyo kimulaga nti tonneetegekera
buvunaanyizibwa bwabufumbo. l Obutaba mwesigwa: Obulimba, okukukuta, okusuubiza ebintu n’atabituukiriza, bireetera  omuwala obutamwesiga. l Okwebalama okwogera ku biseera eby’omu maaso: Omulenzi
bwe yeewala nnyo emboozi ezikwata ku kuwasa, omuwala alowooza nti tali ku bya bufumbo