ABAKUNGUBAZI batenderezza omukululo gwa taata w’Omutume Joseph Sserwadda eyafiiridde ku myaka 99. Omugenzi Ssaalongo Emmanuel Musigire, eyazaalibwa mu December wa 1927, yafiiridde mu ddwaaliro e Nsambya oluvannyuma lw’okulongoosebwa emirundi egiwera olw’okwetukuta kw’omusaayi kwe yafuna mu 2018.
Omugenzi yazaala abaana 12 nga Sserwadda waakusatu wabula abalamu alese mukaaga. Alese abazzukulu 36 n’abazzukulu bannakabirye 65.
Mu kumusabira okwabadde ku Kkanisa ya Victory Christian Centre mu Ndeeba ey’Omutume Sserwadda, abadde omubaka wa Palamenti owa Kimaanya Kabonera, Dr. Abed Bwanika nga ye yakiikiridde Bannamasaka, yategeezezza nti Omutume Sserwadda abakoze obulungi era y’omu ku basinze okubamanyisa Masaka.
“Omuntu anaagasa ensi afuna okuyigirizibwa mu bifo bingi, ng’essomero, eddiini ate nga ffamire y’esinga obukulu era Omusumba Sserwadda ky’ali kati kikuwa ekifaananyi ky’obukulu bwa ffamire mwe yava olw’okuba yabangulwa,” Dr. Abed Bwanika bwe yagambye.
Ku lw’akakiiko ka Inter-religious Council Uganda nga kano ke kagatta enzikiriza ez’enjawulo mu Uganda ate ng’omutume Sserwadda atuula ku kakiiko, obubaka bwako bwasomeddwa Ssaabasumba w’Abasodokisi, Metropolitan Jeronymos Muzeeyi eyayogedde ku mugenzi ng’eyakola ennyo okufuula Omutume Sserwadda ekyokulabirako ekirungi eri abantu.
Omutume Sserwadda yayogedde ku kitaawe ng’omusajja eyamuyigiriza okwekkiririzaamu n’okukola era eyamwagazisa okusoma newankubadde ye yali yakoma mu P4. Yeebazizza abasawo abamujjanjabye.
Abeetabye mu kusaba kwabaddeko; Msgr Charles Kasibante, omumyuka wa Mufti wa Uganda, Omusumba Grace Lubega, Pasita Sarah Mambule, Omubaka Kinyamatama ate Pasita. Grivas K Musisi ye yabadde omubuulizi omukulu