Ssenga

Kaggo asabye abaami ba Kabaka

OMWAMI wa Kabaka atwala essaza ly’e Kyaddondo asabye abatongole n’abamyuka baabwe okubutakoma ku kweyita baami ba Kabaka wabula obwami bwabwe bweyolekere ne mu bikolwa byabwe.

Kaggo Magandaazi Matovu (ku kkono) ng’ayogera eri abaami ba Kabaka.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMWAMI wa Kabaka atwala essaza ly’e Kyaddondo asabye abatongole n’abamyuka baabwe okubutakoma ku kweyita baami ba Kabaka wabula obwami bwabwe bweyolekere ne mu bikolwa byabwe.
Kaggo Haji Ahmed Magandaazi Matovu yabyogedde, bwe yabadde mu kijaguzo ky’abatongole mu ggombolola y’e Gombe mu Kyaddondo nga baweza omwaka mu buweereza ku mbuga y’eggombolola. Yabasabye okwongera amaanyi mu pulojekiti ezaabaweebwa, lwe banaasobola okuzinnyonnyola be bakulembera.
Yakkaatirizza obukulu bw’okuzimba n’okukulaakulanya pulojekiti ezikolebwa nga okulima emmwaanyi, olusuku, muwogo n’ebirala ng’ekkubo ly’okukuuma ettaka okwewala ekibbattaka.
Kaggo yawerekeddwaako olukiiko lw’essaza. “Tuli mu keetalo k’akalulu k’obukiiko bw’ebyalo. Nga abaami ba Kabaka, tulina okukimanya nti tuli baweereza ba buli omu ng’ebyobufuzi tetulina kubyetabamu,” bw’agamba
Omwami w’eggombolola y’e Gombe, Erick Sserugo yamwanjulidde enteekateeka y’okwongera okusakira ekisaawe ky’essaza ekiri ku mbuga y’eggombolola kizimbibwe era kiggulwewo omwaka guno.
Yamuloopedde n’abazadde abagayadde okutwala abaana mu masomero. Kaggo yatongozza n’okutunda satifikeeti ez’omwaka omuggya n’ebitabo omuwandiikibwa ebikwata ku baguza satifikeeti