Ssenga

owangaaza otya obufumbo oluvannyuma lw'okukuba ebirayiro

MU kiseera ng’abantu bagattibwa mu bufumbo obutukuvu ne bakakasa bannaabwe nti ‘I do’ (nzikirizza), waliwo ekyebuuzibwa nti:n ‘Obulungi obw’okungulu bukulu mu bufumbo?

Ssenga Hamidah
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MU kiseera ng’abantu bagattibwa mu bufumbo obutukuvu ne bakakasa bannaabwe nti ‘I do’ (nzikirizza), waliwo ekyebuuzibwa nti:n ‘Obulungi obw’okungulu bukulu mu bufumbo?

Oba waliwo ebirala ebisinga amaanyi oluvannyuma lw’okukuba ebirayiro by’olubeerera mu baagalana?
Abamu bagamba nti omukaziomulungi oba omusajja alabikaobulungi asikiriza omwagalwa we wabula abakugu bakikkaatiriza nti obufumbo obuwangaala tebwesigama
ku ndabika yokka wabula ne ku mpisa, obugumiikiriza, empuliziganya n’engeri abantu gye bakwataganamu oluvannyuma lw’embaga.
Okwewuunaganya kuno kujjiddemu kiseera nga twetegekera omwoleso gwa Bride & Groom ogutegekebwa Vision Group nga guno gwakubaawo nga June 26 okutuuka 28 mu UMA Multipurpose Hall e Lugogo. Omwoleso gw’omwaka guno gutambulidde
ku mulamwa ogugamba nti: ‘Beyond I Do: A Journey of Love,n Home and Family.’ (Nzikirizzaleero ne bulijjo. Olugendo lw’omukwano, amaka ne ffamire).
Omulamwa guno gulaganti oluvannyuma lw’okukuba ebirayiro by’obufumbo,
olugendo olusinga obukulu luba lutandise; olw’okuzimba ffamire entebenkevu nga
muno muzingiramu bingi nga okwewaayo, obugumiikiriza, okuwuliziganya
n’okukuuma enkolagana.
Abamu balowooza nti essanyu ly’olunaku lw’embaga, omuli okunyumirwa engoye ez’ebbeeyi, okwekubisa ebifaananyi eby’omulembem n’okukung’aanya abagenyi ab’amaanyi ku mukolo kye kikulu mu bufumbo. Naye oluvannyuma lw’omukolo okuggwa, obulamu butandika. Wano we wajjira ekibuuzo nti: Obulungi
bw’okungulu bwa nkizo ku kuwangaaza obufumbo? Kojja Kevin Nyanja, abuulira abaagalana agamba nti obulungi bukola ku ntandikwa y’okwagalana naye bulina we bukoma. “Obulungi bwe busikiriza abantu okwagalana. Naye omusajja atuuka ekiseera n’atandika okunoonya omukazi amugumiikiriza, amuzimba,n amufaako era amussaamu
ekitiibwa,” Kojja Kevin bw’agamba