SSENGA, nnina mukyala wange gwe mmaze naye omwaka gumu naye omwana akyabuze. Baatukebera ne batugamba nti omukyala talina buzibu wabula nze nnina obuzibu nti enkwaso zange nnafu okufunyisa omukazi olubuto.
Kati okuva mukyala wange lwe yamanya nti obuzibu buli ku nze, atandise okwenda ate nga twali tutandise okukola omusawo bye yatugamba asobole okufuna olubuto. Bwe mmugambako, agamba nti ate oba sizaala tasobola kungumiikiriza. Nkoze ntya?
Mmuleke akole by’ayagala? Nange saagala andeetere situleesi. Mu bantu be, andaalaasa nti nze sizaala. Ekizibu ky’olina si kipya era ennaku zino abasajja n’abavubuka abamu bakirina. Okusinga kiva ku mmere abavubuka gye balya n’embeera mu bulamu obwa bulijjo.
Omuvubuka alina okulya emmere nga mulimu ekiriisa ky’emmere ezimba omubiri.Eno eva mu bijanjaalo, ebinyeebwa, engege n’ebirala era ekola enkwaso eng’umu. Ebintu bye mulya nga birimu amasavu amangi oba butto birina kye bikosa enkwason z’ekisajja.
N’okwemazisa kunafuya enkwaso z’omusajja.
Naye ate waliyo abasajja nga yatondebwa nga entula ze tezikola nkwaso mu bungi. Oluusi omusawo akuwa eddagala era n’akugamba by’olina okukola. Kati oba munno tasobola kukugumiikiriza ate ng’atandise na kuzunza lugambo, aba takyali munno.
Abasawo bagamba nti, ssinga omala n’omuntu emyaka esatu nga mwegatta naye nga temufuna mwana, awo mulina okweraliikirira. Naye omwaka ogumu nga ye ayenda, ndowooza aba yayagala dda okubaliga. Oyo asobola n’okufuna olubuto n’alukusiba. Weesalirewo ku mukyala ono naye oyinza obutamusobola.