MWANA wange omulembe ogw’okutuula awaka gwaggwaawo dda. Ennaku zino abasajja abasinga baagala omukyala ng’akola.
Ate okukola tekitegeeza nti olina okugenda mu kibuga kukola kuba osobola n’okukolera awaka, abam balima n’okulima.
Ate okulima tekitegeeza nti ggwe agenda okulima, wabula obeera supavayiza. Naye ggwe oyagala omwami waffe akole emirimu gy’omu ofiisi akole n’emirimu gy’okulima nga ggwe oli waka otudde.
Ennaku zino, amaka okubeera n’omulimu ogumu nga gwe guleeta ssente kya bulabe nnyo.
Ennaku zino abantu bayiriba, akola mu ofiisi naye n’abeerayo n’akalimu
ak’ebbali. Ssente z’omusaala ne zikola ku binene ate ez’okuyiriba ne zikola ku by’awaka.
Embeera ekyuse nnyo n’abaasoma e Makerere bali mu Kikuubo, abalala balimi, abalala bakola ebintu eby’enjawulo era omwami n’omukyala buli omu aba alina okukola okutambuza amaka.
By’owoza nti munno z’akola zibamala tebikola. Kati singa omulimu guggwaawo? Abasajja abafuna ebizibu eby’enjawulo ate ng’obuvunaanyizibwa bwa maka busigalawo. Sigaanye abasajja abamu ennaku zino basuula obuvunaanyizibwa ne babulekera abakyala, ekintu ekikyamu. Naye olw’ebbula lya ssente, kirungi omukyala
n’omwami okukola.
Awaka awo, wanene era wasangawo enkoko naye walinga azirwanyisa ne ziggwaawo. Omwami waffe alaba omumenya kuba bw’alowooza ku mukyala we eyafa, ggwe gwe waddira mu bigere alaba ng’omumenya. Abasajja abamu basirika naye omukyala atakola amenya. Ate abasinga abatakola babeera bayombi. Buli kintu ayagala akifune nga tamanyi bulumi musajja bw’ayitamu kulabirira maka. Ebyo by’owoza nti onoonya mulimu gwa ofiisi, n’abakolamu nabo bakaaba ate abalala banoonyayo emirimu emirala gye bongereza ku musaala gwa ofiisi. N’emirimu ya ofiisi mitono.
Abantu kati bafuna ssente nga batunda ebintu ku mitimbagano. Abaasoma ebitabo
baabisuula bakola ekyo ekivaamu ssente. Abakyala abaagala okufuna obufunyi baakudiba. Embeera ekyuse naawe olina kukyuka. Funa ky’okola siraba lwaki osiiba awaka okulaba obuzannyo bwa ttivvi. Omwami waffe agenda kukwetamwa akulekewo.