Ssenga

Muwala obulungi bwo bukulimba kyusa mu nneeyisa

ABANTU b’omusajja bwe baba tebakwagala, weebuuze waki kiri bwe kityo ng’ate abakyala abalala abafumbirwa mu maka ago babaagala. Walina omuze gw’okukudaala,okuyomba n’okuvuma era emize egyo okyagirina ate teri muntu asobola kwagala muntum bw’atyo.

Muwala obulungi bwo bukulimba kyusa mu nneeyisa
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABANTU b’omusajja bwe baba tebakwagala, weebuuze waki kiri bwe kityo ng’ate abakyala abalala abafumbirwa mu maka ago babaagala. Walina omuze gw’okukudaala,
okuyomba n’okuvuma era emize egyo okyagirina ate teri muntu asobola kwagala muntum bw’atyo.

Byonna omwami waffe yabimbuulira era yagezaako okukubuulira naye wagaana okukyusa.
Omuntu atalina mpisa ensi emulema. Olina okuyiga okukolagana n’abantu kuba buli muntu ku nsi yeetaaga munne.
Omuntu amala emirembe ku baana, bamuboola. Olaba nnyazaala akuggyako abaana bo abeere nabo, kitegeeza ggwe maama w’abaana tomanyi kubalabirira. Baakulaba dda nga tosobola kubeera maama.
Abakyala bangi bazaala naye ng’omutima ogw’obuzadde tabagulina. Kyewuunyisa abaana bo baagala nnyo okubeera ne jjajjaabwe okusinga okubeera naawe. Anti buli kiseera oyomba,ovuma n’obakubira n’ebitaliimu. Abaana bakula bulungi singa bakulira mu mukwano. Sitegeeza kuboonoona naye ntegeeza okubabuulira, okubayigiriza emirimu n’empisa ate ng’obalaga  omukwano. Abaana bo tebalina kye bafuna ku bino era wasanyuka okubaggyako kuba obalaba ng’ekizibu gyoli. Oyagala obeere wekka okole byonna by’oyogala.
Okuvuma abantu b’omwami wo kibi nnyo, weerabidde nti abaana b’ozadde ekyo ky’ekika kyabwe. Ggwe kati onookola ki? Obulungi bw’okuliriza si bwe bufumba. b Omwami waffe ayinza okuba yakwagala olw’obulungi bwo naye kati yejjusa kuba tolina
mpisa. Tasobola kubeera naawe, era n’abaana be alaba tosobola kubakuza. Ggwe olaba owonye emirimu gy’abaana naye kabonero kabi mu bulamu bwo. Anti n’omusajja omulala ayagala okukutwala, bw’amanya nti wali tolina mpisa ne bakuggyako abaana, tasobola kukutwala mu bufumbo. Abawala bangi abali mu kibuga nga baakwendako bwenzi tebasobola bufumbo. Era abasinga baagala nnyo ssente n’obulamu obulungi naye nga tebasobola kufumba. Obulungi obwo, ekiseera kituuka n’ova ku mudaala kuba buli
olukya abaana abawala abalungi bazaalibwa. Abasajja abaagala abalungi batwala bato nga gwe okaddiye ate n’empisa tolina. Ggwe emirimu gyakulema, baakuggyako abaana n’omwami yakuviiridde . Weddeko, obulungi tebukuyamba, kyusa mu nneeyisa.

Tags: