Ssenga

OBUVUNAANYIZIBWA BW’OKUTEEKATEEKA OMWANA OMULENZI

Maama ne taata be basookerwako okuteekateeka omulenzi. Mu by’obulamu, maama yasooka n’okumanya oba omwana aliko ensonga yonna eyinza okumukosa mu bulamu era bw’agiraba afuba okugitereeza nga tennasajjuka kumulemsa kukuba saluti mu bukulu.

Ssenga wa Bukedde
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Ssaalongo Tamale agamba nti;
1. Maama ne taata be basookerwako okuteekateeka omulenzi. Mu by’obulamu, maama yasooka n’okumanya oba omwana aliko ensonga yonna eyinza okumukosa mu bulamu era bw’agiraba afuba okugitereeza nga tennasajjuka kumulemsa kukuba saluti mu bukulu.

Taata y’asooka okumanya butya omwana we omulenzi bw’ali ku buli mutendera  gw’atuukako.
2. Bajjajja naddala ku ludda lw’omusajja nabo bayambako ku nkuza y’omulenzi. Naye ate oluusi kikalubamu ku ludda lwa bajjajja abazaala maama kuba omwana omulenzi aba muko nga n’oluusi aba yatuumibwa erinnya lya kitaawe era bamugenda kitono tebamweyabiza nnyo.
3. Kojja, obuvunaanyizibwa bwe obw’enkizo butandika omwana atandiikiriza okukula, okuva ku myaka nga 8 ne bujja nga bukula nga bwe bulambikiddwa waggulu.

Tags: