Ssenga

EMIRIMU GYA KOJJA MU NKUZA Y’OMWANA OMULENZI

NAZZIKUNO nga omwana omulenzi takwata Kojjaawe mu ngalo oba mu kisibokye eky’embuzi nga tamuwadde ssente. 

Abagole abateeketeeke obulungi, batuuka ku bufumbo obweyegaza.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

NAZZIKUNO nga omwana omulenzi takwata Kojjaawe mu ngalo oba mu kisibo
kye eky’embuzi nga tamuwadde ssente.

Abamu ku baafuna ku ssente ezo bayinza obutamanya lwaki zaabaweebwanga nayekyabanga kigenderere okukuuma mukwano n’okuzimba enkolagana wakati w’omwana ono naddala omulenzi ne kkojja we olw’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Kino kyagendereranga okukuuma omukwano omwana awulire ng’ayagalwa.
Omwana bwe yabeeranga ow’okukola omulimu gwonna, nga kojja we asooka kukasukawo ssente oba okuzimukwasa mu ngalo. Omwana omulenzi ono eyafunanga omukwano ogwo, yateranga okwagala ennyo kojja we era bwe yatuukanga okuwasa, ensonga yasooka kuzitegeezangako kojja we era ye yamuluh− hamyanga ku ky’okukola.
KOJJA YAANI?
Ssaalongo James Tamale, abuulirira abaagalana e Nsambwe - Mukono agamba nti kojja, ye mmwanyina wa maama wo (omusajja azaalibwa ne maama wo oba agwa mu lubu oba mu kika kya maama wo). Mu bufunze, kojja ye musajja ava kuludda lwa maama wo.
Buli mulenzi azaalibwa ku ludda gye bazaala maama wo aba kojja ate bw’aba omukyala aba maama era omwana ayita maama wossenga, ggwe omwana oba omuyita maama kuba aba ali bukojja.
EMIRIMU GYA KOJJA MU NKUZA Y’OMWANA OMULENZI
Omwana bw’azaalibwa, abeera avunaanyizibwako kyenkanyi ku ludda lwa maama e bukojja ne mika kye.
Olw’okuba ono omwana aba musaayi gwammwe enjuyi zombi, kojja w’omwana avunaanyizibwa kinene okumubangula ng’akula,era amubuulirira, okumuluh−
hamya, okumusomesa n’ebirala byonna k’abe muwala oba mulenzi.
Wadde nga kiri kityo, bwe kituuka ku mulenzi obuvunaanyizibwa busukkuluma.
Kojja y’ateekateeka omwana omulenzi ng’akula ng’emirimu gyonna egyakolebwanga abalenzi oba abasajja nga okubumba, okukomaga, okuyiisa omwengen’ebirala, kojja ye yabimuyigirizanga.
Bwe kyatuukanga ku maka, kojja yakulemberangamu obuvunaanyizibwa bw’okulaba ng’omulenzi aba atuukiridde era yamwekebereranga nga atuuka okusemba ekirowoozo ky’omutabani we okuwasa ng’amwesiga.
Omwana bwe yawezanga emyaka nga 16 n’atandika okukookolima, yakirabanga nti omwana ono akuze era atandika okulinnyisa ku ddaala ly’ebigambo eby’amakulu by’amugamba. Kojja asomesa omulenzi nti mu budde obutuufu alina okuwasa asobole okuba n’omukyala ateekeddwateekeddwa so si kulonda kkubo n’atandika butandisi maka.
Bw’atuuka okuwasa, kojja amusibirira ekirabo ssemalabo ekinaamuyamba mu bufumbo
bwe era omwana omulenzi  agenda okuwasa asooka wa
kojja n’amukwasa n’omuggo si gwa kukuba mukazi naye kya kwekuumisa eri oyo anaakwata ku mukyala we era ye yamusomesa bw’anaatambuza obufumbo okubuwangaaza.
EBIKYUSE N’ENGERI OBWAKOJJA GYE BUJUNGULUDDWA Waliwo abeemulugunya ensangi zino nti abalenzi batuuka okuwasa ne basanga abawala
abateeketeeke kyokka ng’abalenzi si bateeketeeke. Ssaalongo Tamale agamba nti tulina okuddayo ku nnono nti omwana omulenzi takulira mu maka ga bazadde be wokka
wabula batwalibweko mu maka g’abantu ababagattako naddala kojja w’omwana y’asookerwako okutuusa obuvunaanyizibwa bwe ate tasobola kubutuukiriza mu kulagiririza ku ssimu, alina okubeerako n’omwana.

Tags: