MUWALA, oba omwami wo agaanyi okusalawo tubuulire ekigenda mu maaso tukuyambe.
Aludde ng’akugamba nti agenda kukyala waffe. Muzadde abaana basatu era ffe nga abazadde tumanyi nti oyo muganzi wo. Kati myaka etaano nga tuli mu ssuubi nti agenda kukyala, okwanjulwa kubeewo n’embaga okwo.
Kiki ekigaanyi ng’ozadde abaana oli mu maka ge? Alina obuvunaanyizibwa ku baana be era naawe akufaako.
Ensonga y’okukyala tugyesibako kuba ffe ng’abazadde twagala okumumanya mu butongole naye bigaanyi. Twogedde naye, twogedde ne bazadde be nabo baagala akutongoze naye agaanye okukikola.
Abasajja bangi abazadde mu bakyala abaana, naye nga bagaanyi okutongoza obufumbo. Waliyo abaagala okusooka okwezimba, waliyo abatayagala kubasondera ssente waliyo abatasalawo.
Abazadde tukimanyi nti kirungi omusajja okukyala ne tumumanya naye ennaku zino abasajja bangi tebagendera ku mateeka ge tumanyi.
Beesalirawo era tebafaayo ku bantu bye babagamba oba abazadde. Omwami ono tatubuulira lwaki takyala oba lwaki takutongoza ne tumumanya. Olwasembayo, yategeeza nti ajja kukyala mu budde obutuufu nti mu mbeera gye mulimu alaba tekyetaagisa kasita abalabirira. Ndowooza ffe abazadde waliwo kye tutamanyi wakati wo n’omwami ono. Waliwo ekintu kye wakola omwami ono? Oba ekiseera ekituufu tekinnatuuka? Oba waliwo kye wamukola, olina okumwetondera. Ennaku zino bakyala mulina ebigambo bye mwogera n’ebikolwa bye mukola mu bufumbo nga byonoona mikisa egy’okufuna amaka. Mu mbeera gy’olimu, kirungi ofuuke omukyala omutongole
kuba olina abaana tosobola kulabirira baana abo singa omusajja yeekyusa. N’ekirala muganda wo yagamba nti eby’ekisenge byafa. Kituufu? Kuba omusajja bw’atuuka
mu mbeera n’asalawo obuteegatta naawe ng’omanya nti amaka gafudde. Tubuulire tutaase amaka.