Ssenga

Okwongeza, okukuuma n’okutuusa omukwano ku ddaala eddala

OMUKWANO gulinga kikajjogwetaaga bugumiikiriza ng’olya anti gy’okoma okulya gy’okoma n’okuwoomerwa. Abaagalana bangi basubiddwa essanyu n’obuwoomi bw’omukwano olw’obutagumiikiriza.

Ssenga wa Bukedde
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUKWANO gulinga kikajjogwetaaga bugumiikiriza ng’olya anti gy’okoma okulya gy’okoma n’okuwoomerwa. Abaagalana bangi basubiddwa essanyu n’obuwoomi bw’omukwano olw’obutagumiikiriza.
Wadde oluusi omukwano gubaamu ebisomooza, waliwo ebintuabaagalana bye basobola okukola n’okwewala n’atuuka ku kkula ly’obuwoomi bw’omukwano. Muhammad Ssempijja, Kansala e Mutungo agamba nti okuwangaaza omukwano okugutuusa we guwoomera olina okubeera omwegendereza. Agamba nti waliwo ebintu omuntu by’asobola okukola n’akuuma omukwano n’omwagalwa we okutuuka okuguwoomerwa;

1. Okutuukiriza ebisuubizo; Singa omuntu abaako ky’asuubiza omwagalwa we, akirindirira mu ssanyu olw’omukwano ogubaawo wakati waabwe. Naye singa ekisuubizo ekyo kiremwa okutuukirizibwa, wabaawo okwennyika mu mutima. Singa ekisuubizo kituukirizibwa, kizza omukwano obuggya nga kitegeeza nti n’oyo gw’owadde kye wasuubiza naye aba ajja kwanguyirwa okukukolera ekirungi nga kino kizza buggya omukwano ne kikuuma n’obwesigwa.
2. Okwekuuma mu by’oyogera: Si kirungi nnyo okwererejja. Sengejja mu by’oyogera eri omwagalwa wo kuba oluusi wabaawo ebitanyuma kuwulira wadde biba byaliyo.
3. Okwekuuma ehhambo n’okusengejja ebikugambibwa; Omukwano gwonna nga gunaakula tegusaana kutambuliza ku hhambo kuba abamu baba tebabaagaliza.

4. Okwekuuma ku mitimbagano; Tusaana okukozesa emitimbagano gino okuggyayo ebirungi ebigumya omukwano okusinga okweronda n’okwagala okukoppa eby’abalala.
5 Okuteeka essira ku bulungi bw’obufumbo: Ng’onoowangaaza omukwano, olina okulowooleza ennyo mu birungi ebigulimu okusinga essira kulissa ku nsobi n’ebibi ebigubaamu.
Kino kiyambako okukuuma obwongo nga busanyufu nga bulowooza birungi. Omutongole wa Ssaabasajja owa zooni IV, V ne VI e Mutungo, Robert Mutesaasira Lubowa agamba nti omukwano gwonna okukula omuntu alina okuba nga;
6. Otegeera munno: Abaagalana bonna buli omu kimukakatako okutegeera munne n’okumusoma. Manya nti omwagalwa wange bw’aba alina ekimunyiizizza yeeyisa atya nga kino kiyamba okusalira awamu amagezi naddala ku bibasoomooza. 7 Okwewala olusirika: Y’embeera, abaagalana gye babaamu nga tebeenyega kyokka Mutesaasira agamba nti ya bulabe nnyo kuba tomanya munno ky’akulowooleza mu kiseera ekyo. Abaagalana balina okugyewala.
8. Ebyenfuna: Mu kaweefube w’okukuuma omukwano nga guli waggulu, abaagalana bateekeddwa okutereeza ebyenfuna byabwe kuba buli omuntu bw’aba buli kadde akaaba obwavu, bayinza okuvaamu kutabuka.
9. Obutaggyako muliro: Omuyimbi Annet Nanduja yayimba nti; ‘...Omukwano gumupiike ne bw’onoomuwa overdose si ggwe nnyina gumukeese...’ Omukwano gunyuma nnyo ng’agufuna agufunira ddala mu bungi. Okutuusa omukwano ku ddaala eddala, kyetaagisa omuntu okussaamu amaanyi ku mulamwa ogw’okwagalana.

Tags: