Ssenga

Obadde okimanyi nti okunyeenya ekitanda kye kimu ku binyweza obufumbo

“NYEENYA ekitanda, onyweze obufumbo!” Amaka n’obufumbo byetooloolera nnyo ku kisenge. Ate ekisenge mwe mubeera ekitanda ng’ebikolebwa ku kitandaky’abafumbo mulimu okunyumya akaboozi n’okuwummuza obwongo nga beebase. Ekitanda ky’abafumbo kya muwendo nnyo anti ensonga enkulu ekolebwako ey’okunyumya akaboozi, y’emu ku zigatta abaagalana ne zibaggya ne mu bakadde baabwe, bagende  beetaaye n’abantu be balabye obukulu.

Abaagalana mu budde bwabwe obw’eddembe.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

“NYEENYA ekitanda, onyweze obufumbo!” Amaka n’obufumbo byetooloolera nnyo ku kisenge. Ate ekisenge mwe mubeera ekitanda ng’ebikolebwa ku kitandaky’abafumbo mulimu okunyumya akaboozi n’okuwummuza obwongo nga beebase. Ekitanda ky’abafumbo kya muwendo nnyo anti ensonga enkulu ekolebwako ey’okunyumya akaboozi, y’emu ku zigatta abaagalana ne zibaggya ne mu bakadde baabwe, bagende  beetaaye n’abantu be balabye obukulu.
Oyinza okwebuuze nti ate okunyeenya ekitanda kikwataganira wa n’okunyweza obufumbo? Ffe wano mu kunyeenya ekitanda, tutegeeza kunyumya kaboozi anti mu kunyumya akaboozi, ekitanda tekiyinza kusigala kye kimu! Abagaalana abamanyi omukwano, buli ekibasanyusa bakikolera mu kitanda era biri eby’edda ebitaalinga binywevu, nga bivaamu amaloboozi nti; ka ka ka ka... era ne byenyeenya olwo ng’omupiira guli mu ntabwe nga gye biggweera, ggoolo kunywa n’abasambi, akatuuyo ne kabakkaOkunyeenya ekitanda, kimu ku binyweza obufumbo era baakiraba ne bagamba nti; “When the bed is not shaking, marriage is shaking” ekivvuunulwa nti singa ekitanda kiba tekyenyeenya, obufumbo buyuuga.

Kamisona wa poliisi avunaanyizibwa ku nsonga z’amaka n’abaana, Jackson Mucunguzi akikkaatiriza nti singa omuntu alemwa okukwata obulungi ekisenge, ekitanda ne kitanyeenya obufumbo bubeera mu katyabaga. “Bw’osanga abafumbo 5 nga balina obuzibu mu bufumbo bwabwe, 4 ku bo obuzibu bubeera buva mu kisenge nga baasuulirira nnyo ensonga y’okwesanyusa,” Mucunguzi bw’agamba. Ayongerako nti; omufumbo bw’alya ekyenkya, ekyemisana n’ekyeggulo kya tteeka okulya n’ekyekiro mu kisenge.
Ng’okunyeenya ekitanda nga bwe kitegeeza okwegatta, okunoonyereza okwakolebwa abakugu kwalaga ebirungi ebikirimu okuli;
1. Kyongera okwekkiririzaamu n’okuwulira ng’oli wa kitalo okusinga ku balala. Obugambo obukozesebwa mu kaboozi, buwaana era bwongera okumatiza gw’oli naye nti y’asinga abalala wamma n’emirembe ne gibukala mu maka.
2. Okufuna otulo otulungi: Abaagalana bangi, oluvannyuma lw’okwesanyusa, beebaka. Mu kwegatta n’okutuuka ku ntikko, ebirungo n’obusimo obufulumizibwa mu bwongo okuli ekya oxytocin, dopamine ne endorphin buleka abaagalana nga bawulira bulungi era
mu kuwummulamu, otulo we tujjira, emirembe ne gijja.
3. Kyongera ku busobozi bw’omubiri okwerinda endwadde: Abaakola okunoonyereza ku bantu abeenyigira mu kaboozi waakiri emirundi ebiri mu wiiki, baakizuula nti bongera okufulumya ekirungo kya IgA, ekiyamba omubiri okwerinda ndwadde ne basinga abo abateenyigira mu kaboozi. Wadde kino waaliwo abakiyiwamu amazzi nga bajuliza nti abantu abeegattagatta, kyangu okufuna endwadde z’obukaba kyokka abaakola okunoonyereza baategeeza nti bano baba bafulumizza ekirungo kya IgA ekiraga obugumu bw’omubiri okulwanyisa endwadde era kibayamba okubatangira okuzifuna.
4. Mu kunyeenya ekitanda, mubaamu okukola dduyiro azingiramu okukozesa omutima, ekirungi eri omubiri. Okunoonyereza okwakolebwa mu American Journal of Cardiology kwalaga nti abasajja abali mu myaka 50 n’okudda waggulu nga beenyigira mu kunyumya akaboozi waakiri emirundi ebiri mu wiiki, tebatera kukwatibwa nnyo ndwadde za mutima bw’obageraageranya ku
basajja abatanyumya kaboozi.

5. Okunyeenya ekitanda entakera, kikendeeza ku katyabaga k’okufuna puleesa eyandiviirako omu tu okufuna situlooko n’alemesa n’abasajja okusituka.
6. Abakugu mu byobwongo, bagamba nti okunyumya akaboozi n’omuntu gw’oyagala, kiggyawo okulumizibwa kw’omutwe. Abantu abatawaanyizibwa obulwadde bw’omutwe ogw’olutentezi (migraine), bwe banyumya akaboozi, gukendeera. Kuba mu kwegatta, omuntu afulumya obusomyo bwa ‘endorphins’, obukendeeza ku bulumi mu mubiri.
7. Mu kaboozi, bafulumya enkwaso ezigogola prostate ne kikendeeza ku katyabaga k’abasajja okufuna kkansa wa ‘prostate’.
8. Okwegatta entakera kikendeeza ku situleesi n’okuyombayomba ne kuggwaawo.

9. Okwegatta kirinnyisa ku nkola y’obwongo mu bakazi ne babeera nga bajjukira mangu. Kusaanuula ekirungo kya ‘hippocampus’ ekimu ku biri mu bwongo ekiyambako
omuntu okuyiga n’okujjukira. 10. Ezzadde mu maka: Katonda yatonda omukazi n’omusajja n’abassa mu nsi era n’abalagira nti; “Mugende muzaale mwale..” Okuzaala kuno Katonda kwe yayogerako, kulina kuyita mu kunyumya kaboozi toolabe tekinologiya eyajja, agenze aleetawo enkola empya mu kuzaala.

EBIKUYAMBA OKUNYEENYA EKITANDA BULI LUNAKU

Abafumbo abamu baba n’ebyekwaso eby’obutanyeenya kitanda. Mucunguzi agamba nti waliwo bye balina okukola, bibasobozese okukinyeenya. Ebimu ku byo byebino;
l Obuyonjo kikulu: Ekisenge mukinyirize era mukitegeke. Bw’ova ku kisenge, weetunuliremu oba oli muyonjo. Owunya bulungi, omubiri gunyirira?
Munno asobola okukutunulako obutunuzi, n’asabbalala ekiddirira kiba kunyeenya kitanda. l Beera mwetegefu okugabula munno kuba ne Bayibuli mu
Bakolinso 7:5, ekyogerako. l Okwekuuma ng’oli mulamu kikulu kuba n’akaboozi
tekanyumira balwadde.
l Mubeere bayiiya mu kisenge era buli omu abeeko ky’assaamu okusanyusa munne.

Biki ebireetera ekitanda obutanyeenyezebwa? 

1. Abakyala abamu abafumbo, baatandika enkola y’okuguza ba bbaabwe akaboozi mu nkola ya; ‘mpa nkuwe’ olwo omusajja lw’aba talinaamu, tebamukombya n’ekitanda kiba tekijja kwenyeenya.
2.Okutwala obusungu mu kisenge n’okwagala okwesasuza: Abakyala abamu, balina enjogera egamba nti; omukadde akwasizza ku mmere ye ng’olwo omusajja alina kye yamunyiizizza n’amulinda mu kisenge, obutamukombya ku kyakulya kyokka nga kino bakikola mu butamanya.
3. Abamu basuulirira okunyeenya ekitanda olw’obutamanya birungi bikirimu. Abamu baba tebaafuna kubuulirirwa nti obufumbo butandikira mu kisenge ng’ebikolebwayo bwe biba byassanyu, n’amaka gaba mu ssanyu. 4. Okulabankana ebbali olwo awaka n’otwala tulo era waliwo abagamba nti ebyamaguzi bingi ku
katale, bwe badaazibwa awaka nga bakyama ebbali. 4. Obulamu bw’okutawuka n’okunoonya ssente, buviirako abafumbo abamu okusuulirira ekitanda.
5. Essimu eyawudde abafumbo nga bali omu anoonya bimunyumira ku mutimbagano

Tags: