Ssenga

Obugambo obuliko obukozesebwa mu kitanda ensagi zino

OMUYIMBI omu yakuba akayimba nti; “Ono sisiiri twamukooye, mutuyiiyize ku buyimba obunyuma...,” Ono yali ayogera ku luyimba lwa ggwanga oluyimbibwa abaagalana mu kitanda.

Abaagalana nga bali mu mukwano
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUYIMBI omu yakuba akayimba nti; “Ono sisiiri twamukooye, mutuyiiyize ku buyimba obunyuma...,” Ono yali ayogera ku luyimba lwa ggwanga oluyimbibwa abaagalana mu kitanda.
Omuyimbi ono, yeesiba ku bakyala obutaba bayiiya, kufunayo ku bigambo bipya,

biwaana ba bbaabwe nga bali mu kazannyo.
Emirembe ku buyimba buno, gizze gikyuka ng’abakyala ab’edda, bagabanga byalo. Kyokka ate era, bassenga abaabuuliriranga abawala abagenda okufumbirwa, nga babakuutira okusaba buli kye baagala nga bali mu kaseera ako, kabe katego omwami abiwulire era abiwe omukyala ono. Kyokka ate abalala ne bategeeza nti wano oyinza
okwetamya munno akazannyo, ne bakuutira abawala okuwaana buwaanyi ba bbaabwe,
mu buli mbeera.
‘Abaana’ ba luno buli lukya bayiiya okunyumisa akazannyo era obugambo obupya obukozesebwa singa abadde minisita Justine Nameere, yandibuyise ‘stock’ empya.
LWAKI OLINA OKWOGERA NGA MULI MU KAZANNYO?
Kojja Bryan Ssemanda, abuulirira abaagalana agamba nti wadde ebikolwa birungi mu kisenge, naye ebigambo kikulu nnyo mu kunyumisa omukwano era kirungi omuntu n’atandika okubikozesa nga yeetekerateekera munne kuba kyongera obuswandi.
Mu kaseera ng’abaagalana b’eteekerateekera ekisenge, nga bali mu kisenge ne bwe baba
bakifuluma kirungi okwogera era osanga omuntu nga buli lw’ajjukira akagambo munne ke yali amugambye mu kaseera akamu, ogendaokulaba ng’ataddeko ne simayiro n’omukwano ne guwangaala.
Akagambo okoogere otya?
1. Akagambo kasaana ne kamugambibwa mu kutu ne kamuyingira nga tewali kye yeekwasa nti tawulidde kimugambiddwa.
2. Kalina kwogerebwa mu ddoboozi erikkakkamu nga bw’ogattamu ne sitiiriyo.
3. Omusajja, baako ky’oyogera ku kapale k’omuwala ak’omunda munno ke yakwambalidde era essira lisse ku langi yaako n’enkula.
4. Akapale nga kayita mu magulu, obugere osobola okubwetegereza obulungi era nabwo bwogereko nti bunyirira nga bwa malayika olabe oba takuwe bintu n’omutima gumu.
N’omuwala tolina kubunira nga munno akussa obwama. Munno mugambeko nti;
l ‘Bbebi ggwe akimala’ amakulu nti ebizibu by’omukwano byonna by’ayitamu, oyo gwali naye essaawa eyo yabimumalira. Ate mwanamulenzi kakasa munno nti amabanja gonna wagasasudde. Wadde muli mu kaboozi, olina okukimanya nti abakyala tebaagala mbeera mbi era mugambe nti tolina kikusumbuwa.
l Bye wannyiizizza byonna mbikusonyiye: Mu mukwanomubaamu okusobya era kirungi n’oyatulira munno mu kaseera ako nti ebyabadde bireeseewo emigozoobano mu mukwano gwammwe byonna obimusonyiye. Obugambo obwo bumucamula n’akwewa yenna.
l Buli kimu ekyange kikyo: Munno muwe buli kitundu ekiri ku mubiri gwo, akivunaanyizibwako era wano ayinza n’okulowooza nti ye nnannyini nsi mu kaseera ako.
l Weeyagale nnannyini lubiri: Omusajja asobola okwekomommanaddala ng’omukazi gwali naye empiki ky’ajje amufune. Wano omuwala w’olina okubeera omuyiiya n’ositula obuvumu bwa munno ng’omukakasa nga bw’alina okweyagalira mu mbuga ye. l Omuwala osobola okugamba omulenzi nti; Effumu ddala ttabaazi era likoze omulimu gwennyini ogulisuubirwamu, litabaaze ddiya, limmaleko ennyonta
y’omukwano.
l Kulikayo mu lutabaalo mukwano.

Tags: