ABAKYALA abaludde mu bufumbo, abawala abato bajja kwongera okubakuba bbusu basigule abasajja bammwe nga muli mu kwekomomma. Ate abawala bano bongedde okuyiga ebinyumira abasajja ne babeeyunira olw’essanyu lye babawa mu bulamu obwabulijjo n’okusingira ddala mu kitanda olwo waleti ne basumulula nga basanyufu bya kitalo.
Okumanya abawala bamanyi kye baagala eky’abasajja okubagamba nti bafumbo ebakirabamu lusozi lwonna olwo ne badda mu kubakubisa (abakyala b’awaka) obukodyo okuwangula emitima gy’abasajja bano. Mulimu n’abafiiriddwa amaka anti nga tebalina kapya kasanyusa musajja okumusigalako.
Simanyi mubeera mutya kubalaba mbuto anti bwe muzaala abaana nga ebya ‘potabo’ mubyerabira.
Mbu omusajja yakozesa ne ku ‘Man Power’ n’atya okufiira mu kitanda anti bwe yabumiranga omutima nga gwewuuba kumpi kwagala kubuukayo.
Ku by’okuzza Solomon engulu mu kitanda Tracy yatandika bwati: “Omusajja akuze ggwe olina okumussa mu mmuudu ng’oyagala beeko ky’akola mu kifo ky’okulinda mbu ye akuteeke mu mmuudu.
Ne bw’aba akyali na mu ngoye mmukwata ku ffulaayi nga bwe mmubuuza ‘Is my prince not missing me…’.
Amazima gennyini omusajja agalulirawo ate tolina kumuta. Sigala ng’omuwembejja olwo ayongere okuwaga nga bw’omutema sipeeya. Tolina kuzikiza okutuusa nga yeesozze ekiwanja n’osumulula otuloboozi ate tunyuma nnyo nga oyogera Lungereza wakati mu ttaala ng’emmaali yonna agiraba bulungi. ‘Daddiiiiiii this is greeeeeatiiiiiii… so wonderful…,’
Sandra kankome awo naye oyinza okulaba omusajja bwe yeefuumuula ate osobola
okumukkakkanya asiriikirizeemu naye ng’asigadde mu kiwanja era oluvannyuma wa sikonda 40 ku 80 n’okuddamu okukukalakata.
Awo abeera ng’eyaakatandika era mu mbeera bw’eti ayinza okuwangaala eddakiika 20 ku 30 era wano Solomon we yampaanira okukkakkana ng’ansimbye ennyumba amatiribona nga bw’ambuuza nti bannange Tracy okikola otya…nze nnali mmanyi nti sikyasobola kuyunga... Okimanyi nti n’ekyapa kya poloti awali ennyumba yakiteeka mu mannya gange!’’Mwana muwala Tracy yandeka nkanudde maaso. Nsuubira abakyala mubitegedde